Bazadde bange baang’aana okufumbirwa omulenzi gwe nnali nfunye lwa ddiini.
Nze Shamim Nansubuga Galiwango, mbeera Nansana. Nzaalibwa mu maka Masiraamu era twakula bazadde bange batukuutira bulijjo okufumbirwa abasajja ab’eddiini yaffe.
Wabula enteekateeka za Mukama nga bwe zitategeerekeka, mu 2011 nasisinkana omuvubuka eyansaba tube ba mukwano.
Yamala ekiseera kiwanvu ng’anneegayirira tubeera ffembi mu mukwano wabula nga saagala kumuwa mutima gwange kuba yali mulokole.
Yatandika okunkolera ebintu mu butuufu ebyantengula omutima ate nga nange ndaba yeeyisa bulungi ng’asaanidde okubeera omwami wange.
Natuukirira bazadde bange ne mbategeeza byonna kyokka ne bakomba kw’erima nga bagamba tebasobola kunzikiriza kufumbirwa musajja atali Musiraamu.
Kino kyammalako emirembe kuba mu butuufu omusajja nnali mmusiimye bwentyo ne mmalirira okugendera ku kiki omutima gwange kye gung’amba.
Twagenda mu maaso n’omukwano gwaffe okutuusa abazadde lwe baalaba nga tebakyayinza kutuyimiriza kwe kunzikiriza nfumbirwe omusajja gwe njagala.
Twateekateeka omukolo era ne guba mulungi wabula bazadde bange bantegeerezaawo nga bwe batagenda kujja ku mbaga yange era ne bakituukiriza.
Kino saakitwala ng’ekikulu kuba baali bamaze okunzikiriza. era kati ndi mu bufumbo bwange tuli basanyufu n’omwami wange.
Njagala okwebaza omwami wange byonna byankoledde n’okugumira byonna bye twayitamu era nsaba Mukama atulung’amye.