Bya BENJAMIN SSEBAGGALA NE LWANGA KAMERE
EMPAKA z'omupiira gw'Amasaza e Bunyoro bazitongolezza mu nguudo ne mu Lubiri oluvannyuma Omukama
ne bamukwasa ebigenda okukozesebwa mu mpaka zino mu Lubiri lwe e Rwakaziika.
Abanyoro n'abayizi okuva mu masomero ag'enjawulo, ku Lwokusatu baakedde kuyisa bivvulu ku nguudo z'ekibuga Hoima ng'abagenda okuzannya mu mpaka zino bwe beebonga n'emipiira.
Empaka zituumiddwa 'CNOOC Bunyoro Amasaza Cup' nga zigenda kuyinda mu masaza ga Bunyoro 13. Abaatadde
ssente mu mpaka zino aba kkampuni ya CNOOC ekola mu mafuta, baategeezezza nti omuwanguzi agenda kutwala
seddume w'ente, ekikopo n'emidaali.
Omukungu wa kkampuni, Wei Chai yategeezezza Omukama nti kino bakikoze ng'okuddiza ku Banyoro n'okutumbula
ebyemizannyo mu kitundu kya Bunyoro omuli amafuta.
Omukama wa Bunyoro, Solomon Gafabusa bwe yakwasiddwa ebikozesebwa n'ategeeza nti kikulu abantu okujjumbira
ebyemizannyo naddala abavubuka kubanga bangi babiyitiddemu ne bafuna ssente, ekiyambye okutumbula obulamu bwabwe n'okukulaakulanya ebitundu gye basibuka.
Zo empaka z’Amasaza ga Buganda eza semi ziddamu okuyinda enkya (Lwamukaaga) nga Busiro ezannya ne Bulemeezi
e Bugonga ate Buweekula ekyaze Kyaggwe e Mubende.