Bya RASTA FARIA
LEERO yaahi tugenda kukasibira Butambala mwana walabika okubaayo olufuno nga bw’otegeera akalulu bboyi wange.
Waliwo chali wange sayidi z’eyo bakazende be gye babulaaza mwana kati tugenda kutikka ffembi tugweyo tusooke tutawanyise akawanja nga bwe tutayiminga anaalyawo munne tweyunge ku lubeyu tuyiiye.
Ate nze ontegeera otya meeni? Tugenda kwesala ga jjaze abiri ng’erimu lya yello ate ng’eddala kya gguliini mwana olwo tutayiminge abanaabbaaliika nga owaabwe alidde bboyi olwo naffe tukwatire okwo akati tweyunge buli anaagwa mu bishiiti alugwemu masitayiro gage.
Omanyi engeri gye tusaalissaamu ab’omu site akalulu kagenda okuggwa yaahi nga twejenze ne ga kkago mupi ga mwezi mulamba.
Omanyi waliwo abaluleeta nga baagala jjama eyeesimbyewo kumutwala nga kaguddeyo bboyi ne balemesa nga bw’okitegeera.
Ekirungi tugenda kutabbira chali omu makanika aliko enziga ya bboosi we omu gy’apanga kati ayiiyiza Sudan mwana twagala tumukube ekipindi agituwe tumutemereyo kye tumutemera lwe tujja okumalako nga twenyoola.
Awo bboyi tuba tugwa buli wali ekibwatuka ate nga ne kkago yenna gwe tunaatwako nga tuvaawo naye. Wabula mwana ennaku zino saagala kwetimba nnyo ku bbala mu site kubanga bu njolya obwa leeya bbooji ate ng’engeri gye tukola ennyo miisoni mwana wayinza okubaawo chali kuyunga n’olugwamu bboyi.
Ennaku zino nkasibira wali mu bagezi e Kansanga ku kikuubo we wali ba kaze bange abasinga ennaku zino.Eyo sayidi za Kisekka mwana nja kulwawo okudiiringirayo kubanga waliwo ddiira omu ow’ekiduuka baamujimba ne ga sipeeya kati mpulira mbu buli chali gw’amanyi kkava eyamutuusangako emmaali agenda amutaaja mwana nga giwunya. Bboyi gira tubbaale tupange enziga tugwe e Butambala ku tayimu yaffe.