Bya Hannington Nkalubo
SSAALONGO awuniikirizza ekyalo mukyala we bw'amukutte lubona ng'asobya ku muwala waabwe.
Luswata Mayengo akola ogwa makanika mu ggalagi ewa Bakuli, yasuze mu kaduukulu ku poliisi y'e Bulagga ekisangibwa ku luguudo lw'e Mityana.
Mukyala we Kabejja Nakigudde eyabadde ayunguka amaziga, yategeezezza nti ebigambo byamuweddeko oluvannyuma lw'okusanga Ssaalongo ng'asobya ku muwala waabwe ono ( amannya gasirikiddwa).
"Nnamukutte lubona ng'asobya ku muwala waffe ow'emyaka 13 . Bulijjo mpulira babyogera kyokka nga sisobola kubikkiriza naye kyampeddeko nze mwene bwe nnabasanze era ebyange naye mu bufumbo biweddewo" Kabejja bwe yagambye ng'ayunguka amaziga.
Kyokka Luswata yeegaanye byonna ne yeewuunya Kabejja okumusibako omupaatiikako ebigambo kubanga ogwo omusango munene bwegutyo tasobola kuguzza.
"Nze sisobola kukola kintu ng'ekyo ku muwala wange, kyemmanyi tulina obutakkaanya ne mukyala wange ennaku zino era nsuubira kwekukozesa obusungu obwo okunsibako amatu g'embuzi. Nze nninze kimu bagende batukebere mu ddwaaliro amazima gazuuke" Luswata bwe yagambye.

Ssaalongo Luswata ng'ali ku poliisi. Ekif: Hannington Nkalubo
Akulira poliisi y'e Bulagga Rauben Ngasaki yagambye nti Kabejja yaloopye bba ku poliisi era n'abategeeza nti yamukutte lubona.
"Omusango munene, naffe tusazeewo okugwongerayo ku poliisi e Wakiso". Bulagga bwe yagambye.