Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Iryn Namubiru bamukwatidde e Japan
May 07, 2013
Iryn Namubiru
  • print
  • mail
  • img

 

 

 

 

Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE MARTIN NDIJJO


OMUYIMBI Iryn Namubiru bamukwatidde e Japan ne bamuggalira mu kifo ekyekusifu ng’entabwe eva ku biwandiiko bye.

Maneja we, Thadeus Mubiru yakakasizza Bukedde ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nti Iryn yavudde mu Uganda n’ayolekera Japan okuyimba mu kivvulu kya Bannayuganda ekya Golden Week Holiday.

Ekivvulu kyabadde kya yen 3000 (mu za Uganda 77,320/- buli omu z’asasula okuyingira).

Akulira Bannayuganda e Japan Mw. Twibu Ssekamatte yategeezezza Bukedde eggulo ku ssimu ng’asinziira e Japan nti, baakanda kulinda Iryn banyumirwe emiziki gye nga talabikako.

Ssekamatte agamba nti wadde abaakola ku by’okumutwalayo tebaasooka kumugamba buzibu Iryn bwe yabadde afuniddeyo, baamuyise okutaasa Iryn nga bamukwatidde ku kisaawe ky’ennyonyi.

Ayongerako nti yagenze ku kisaawe kye Nakita wabula n’alemesebwa olw’ebiwandiiko bya Iryn ebiraga nti ssi Munnayuganda wabula Omufalansa.

“Nga tumaze okunnyonnyola ab’ebyokwerinda nti tunoonya muntu waffe, baakebedde mu kompyuta ne balabamu amannya ge kyokka ne batulabula nti gwe tunoonya ssi Munnayuganda wabula Mufalansa nga paasipooti ye bw’eraga n’olwekyo tatukwatako,” Ssekamatte bwe yategeezezza.

Iryn yafuna obutuuze bwa Bufalansa olwa bba Frank Morrel, gw’alinamu abaana ababiri.
Wabula baatabuka gye buvuddeko, Iryn n’atuuka n’okumyumyula engugu n’azizza ku butaka ng’e Bufalansa agendayo kulaba ku baana be.

E Japan, Iryn yatwalibwa pulomoota, Kim Ueno nga yali wa kuyimbira mu kfo ekimanyiddwa nga Yotsukaido Cultural Hall ku Lwomukaaga nga May 4, 2013.

E Japan Iryn yali waakugenda n’abayimbi abalala okuli Dr. Hilderman ne King Michael kyokka tebaagenze. King Michael yatutegeezezza nti waliwo bye batakkaanyaako ne pulomoota, bbo kwe kusigala.

Omu ku bayimbi Bannayuganda ababaddeko e Japan yategeezezza nti Iryn yandiba nga yeeyise omulambuzi kyokka n’alemererwa okulaga wooteeri mw’agenda okusula nga kino kye kiyinza okuba nga kyamukwasizza ng’ate ebimu ku biwandiiki bye biraga nti agenze kuyimba.


 

blog comments powered by Disqus
NoImage
Olowooza poliisi eneewa alipoota ematiza kukufa kw'omugagga Kasiwuukira ?
Yes
No
Can't Say
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo