Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Buganda
Abazigu bookezza olubiri lw'e Ggulu
Mukono | May 21, 2013
Ennyumba eyayokeddwa ng''efuuse muyonga/ekif; Henry Nsubuga.
  • mail
  • img


 

 

 

 

 

Bya Henry Nsubuga

Embeera ku mbuga ya Ssekiboobo mu Ggulu e Kyaggwe mu disitulikiti y'e Mukono ya bwerinde oluvannyuma lw'abantu abatannategerekeka bwe bazinze embuga Ggulu ne bookya emu ku nnyumba ey’obuwangwa.

Ennyumba yayokeddwa n’ebengeya buli kimu ekyabaddemu ne kisirikka ekyatadde abakuuma olubiri luno ku bunkenke.

Omumbejja Jamida Nakalema omu ku bavunaanyizibwa ku mbuga eno yategeezezza nti abantu abatategeerekese baakubye ekituli mu lugo olwetoloola embuga eno ne bayingira ekiro ssaawa nga 2 ne bayiwa amafuta ku nnyumba ne bagikumako omuliro n’esirikka.

Nakalema yategeezezza nti eby’obuwangwa byonna ebyabadde mu nnyumba eno bingi tebaasobodde kubitaasa.


Wabula ye Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo yannyonnyodde nti Abambejja n’ab’ekika ky’Engo baafuna obutakkaanya gye buvuddeko nga bakaayanira obukulu mu kifo kino nga n’ensonga bazitwala ew’omumyuka wa Katikkiro atwala eby’obuwangwa Muhamood Ssekimpi kyokka n’atazigonjoola kuggwa.

Ssekiboobo agamba nti kyandiba nga bano bebavuddeko omuzigu eyayokezza ekifo eky’obuwangwa ekikulu ennyo.

Kigongo yagambye nti ku mulundi guno agenda kusaba Katikkiro Ssekimpi alabe ng’agonjoola ensonga zino ng’ekizimba tekinnasamba ddagala.

Ate Kalanzi Kawooya omu ku baabaddewo obulumbaganyi buno we bwakoleddwa yategeezezza nti waliwo abantu abazzenga babalumba mu lubiri luno nga babasaba bamenyewo ezimu ku nju zino n’abantu abali mu lubiri baveemu musigalemu omu yekka nga n’ono agamba nti bano bandiba nga bavunaanyizibwa ku bulumbaganyi buno.

blog comments powered by Disqus
Ebyaffe ebyakomyewo bijja kuyamba Buganda okudda ku ntikko. Okkiriza oba owakanya?
Nzikiriziganya nakyo
Ssikiriziganya nakyo
Can't Say
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: