Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ag’eggwanga
Famire bagiwadde obutwa
Jun 17, 2013
Abaana Musoke, Namagembe,Nannyanzi abaalidde obutwa.
  • mail
  • img



 

Bya DEBORAH

FAMIRE y’abantu bataano bagiteeredde obutwa mu nva ne batwalibwa e Mulago nga bataawa.

Abalidde obutwa kuliko taata Mohammed Kigongo 36, mukyala we Shanita Nakyazze 22, n’abaana baabwe Rahim Musoke 9, Sumahiya Namagembe 7, ne Joweria Nannyanzi 7.

Ambyulensi y’e Kawempe yabaggye mu nnyumba gye bapangisa mu Dungu Zooni e Kawempe nga basesema n’okuddukana era ng’ennyumba yonna ecuuma butwa.

Nakyazze agamba nti yalese enva z’empuuta ku kyoto nga zitokota n’agenda ku dduuka okubaako by’agula era kiteeberezebwa okuba nti wano omutemu we yasuuliddemu obutwa.

“Bwe nakomyewo buli kimu kyabadde nga bwe nakirese kwe kuyingiza enva ne ngabula abaawaka era olwamaze
ne twebaka.

Ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro omwana Joweria yampise ng’asesema nange we natandikidde.”

Mohammed agamba nti yagenze okuwulira nga naye olubuto lumuluma n’atandika okusesema nga bw’afuluma mu kaabuyonjo ekyaddiridde abaana bonna.

Zagenze okuwera ssaawa 9:00 ez’ekiro nga tutaawa ne nkubira muganda waffe Rose Nassuuna eyayise nannyini nnyumba n’aleeta Ambyulensi eyatuleese e Mulago.

Twategeezeddwa nti twabadde tulidde butwa era baabutunuunyeemu ne tuba bulungi”.

blog comments powered by Disqus
Ebyaffe ebyakomyewo bijja kuyamba Buganda okudda ku ntikko. Okkiriza oba owakanya?
Nzikiriziganya nakyo
Ssikiriziganya nakyo
Can't Say
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: