Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ag’eggwanga
Ow'e Bungereza awangudde empaka za Miss Uganda 2013
Kampala | Jul 14, 2013
Stellah Nantumbwe, 22 (wakati) okuva e Masaka eyawangudde engule ya ‪Miss Uganda 2013‬. Yaddiriddwa Anita Kyarimpa (ku ddyo) ate Sandra Amongin, 23 ku (kkono) n''''''''''''''''akwata ekyokusatu
  • print
  • mail
  • imgBya Martin Ndijjo

MUNNAYUGANDA abeera e Bungereza awangudde empaka za Miss Uganda wakati mu kuvuganya okw’amaanyi okuva mu bawala ababalaagavu 22.

Stella Nantumbwe, 22 yabakubizza nkaaga na ddala mu kwogera nga tatya n’engeri bakira gy’addamu ebibuuzo n’obukugu.

Stella Nantumbwe,  (wakati) ,22, okuva e Masaka (ewa wangula engule ya Miss Central ) ye yawangudde engule ya Miss Uganda 2013. Yaddiriddwa Anita Kyarimpa (ku ddyo) eyawangula engule ya nnalungi w'omu bugwanjuba ate Sandra Amongin, 23 n'akwata ekyokusatu.

Maama w'Omukama wa Toro eyabadde omugenyi omuku ng'ayoozayoza Stella Nantumbwe, 22 okuwangula engule ya Miss Uganda 2013.

Wano abantu we baatandikidde okwebuuza gy’abeera nga balaba n’Oluzungu ayogera lungi okusinga ku banne ne bakizuula nti abeera Bungereza.

Maama w'Omukama wa Toro eyabadde omugenyi omuku ng'ayoozayoza Stella Nantumbwe, 22 okuwangula engule ya Miss Uganda 2013.

Nantumbwe enzaalwa y’e Masaka ye yawangula engule ya nnalulungi w'omu massekati ga Uganda 2013 alina ddiguli mu Business Computing gye yaakamaliriza okusoma mu Greenwich University e Bungereza ng'eno gy'abadde abeera ne kitaawe Rogers Nsereko.

Stella Nantumbwe, 22 eyawangudde engule ya Miss Uganda 2013 n' atudde mu Benz (mmotoka) gye baAmuwadde.

Yaddiriddwa Anita Kyarimpa, 19, eyawangula engule ya nnalungi w'omu Bugwanjuba ate Sandra Amongin, 23 yakutte kyakusatu.

Nantumbwe,  ng'alaga mmotoka ekika kya Benzi gye baamuwadde

Empaka zino ezaayindidde ku wooteri ya Serena ku Lwokutaano zeetabiddwako abantu bangi abamanyiddwa n’abatamanyiddwa era okwawuukanako n’omwaka oguwedde abasinga obungi bwe baawakanya okulondebwa kwa Phiona Bizzu eyavuddeko, ku mulundi guno Nantumbwe yabacamudde era olwamulangiridde ku buwanguzi enduulu n’emizira ne bisaanikira ekifo.

 Stella Nantumbwe,  (wakati) ,22, okuva e Masaka (ewa wangula engule ya Miss Central ) ye yawangudde engule ya Miss Uganda 2013. Yaddiriddwa Anita Kyarimpa (ku ddyo) eyawangula engule ya nnalungi w'omu bugwanjuba ate Sandra Amongin, 23 n'akwata ekyokusatu.

Abalala baawuliddwaako nga bagamba nti engule kituufu emugwanidde kubanga ebisaanyizo abirina.

Stella Nantumbwe ng'afa essanyu olw'okuwangula engule ya Miss Uganda 2013

Nantumbwe yaweereddwa emmotoka ekika kya Benz ne ceeke ya bukadde 18 ate Kyarimpa eyamuddiridde n'aweebwa ceeke ya bukadde 12 ne Amongin eyakutte ekyokusatu n'afuna obukadde 6.

 Nantumbwe ne bazadde be. Ebifaananyi byonna bya Martin Ndijjo

blog comments powered by Disqus
NoImage
Nnamungi w'omuntu atambulira ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti ategeeza buwanguzi oba kukyamuukiriza
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo