Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Emboozi
NAMAYINGO: Ekibuga tekirina mazzi, masannyalaze yadde koolaasi
Namayingo | Oct 26, 2013
Namayingo bw’afaanana.
  • print
  • mail
  • img



Bya GEORGE BITA

NGA July 01, 2012 abantu b’e Namayingo kata amazina gabaggwe mu biwato oluvannyuma lw’ekitundu kyabwe okufuulibwa ekibuga, era nga kino kyajjawo nga bamaze okwekutula ku disitulikiti y’e Bugiri.

Tebalina masannyalaze!
Ng’ekibuga kyonna ekikula, kisanga ebizibu ebitali bimu kale ne Namayingo abirina, okugeza tebalina masannyalaze ga bikondo, abaayo bakozesa gano agakolera ku maanyi g’enjuba okukozesa ebintu kompyuta, firiigi, ttivvi n’ebirala.

Mu mbeera eno kasita obudde buziba enzikiza ekwata ekibuga kyonna ne kifuuka kyabulabe nnyo okutambula ekiro.

Ekyo ng’okitadde ku bbali, temuli na mazzi ga taapu, abaayo amazzi bagakima ku nzizi okuggyako ne nayikonto.
Kasasiro abakulembeze bafuba okumuyoola mu bifo eby’enjawulo ku nguudo kwe bamusuula.

Omusolo mutono
Charles Ouma, akulira ebyemirimu mu kibuga agamba nti, Namayingo alimu abantu 2,441. ‘Guno mwaka gwakusatu nga tukola, naye ebintu tebibadde byangu kuba n’omusolo oguva mu bantu mutono ddala, toyinza kugwesigamako kuyimirizaawo kibuga,’ Ouma bw’agamba.

Ku bajeti ey’obukadde 543, Gavumenti ebayambako ebitundu 90 ku 100. Era ku zino obukadde 91 bugenda mu byabulamu n’obutonde bw’ensi omwo nno mwe batwalira n’okuyonja ekibuga.

Enguudo mbi
Ouma agamba nti, enguudo embi kimu ku bintu ebibasoomooza, kuba zitaataaganya ebyentambula eri abantu n’ebyamaguzi ebitali bimu.

Agamba nti, singa enguudo ziba zirongoose kijja kuyamba entambuza y’ebyamaguzi naddala okuva e Busia ku nsalo kuba abantu mu kibuga kino bangi ku bo basuubuzi, kale kikosa n’emmaali yaabwe kuba bagenda okugituusa ng’esaabaanye enfuufu.

Ekizimbe ekipya ekigugumulwa.

Abalunzi b’ente
Agamba nti, abamu ku bantu mu kitundu balimi ate balunzi wabula balunda nga bagoberera amateeka g’ekibuga agafuga ebisolo.

Wabula waliwo abalunzi abanyoomoola ebiragiro by’ekibuga ne bata ebisolo ne bitaayaaya ekiro olwo ne bamansa obusa mu kibuga, naye tugenda kukola ekisoboka okulaba ng’abalunzi bano tubakwatako.

Namayingo alimu eddwaaliro limu eddene erya Buyinja Health Centre IV, era singa omulwadde alemererwa asindikibwa Bugiri, ze kiromita 40 okuva e Namayingo.

Wabula abantu abasinga tebaagala kugenda kufuna bujjanjabi, era kino kiwaliriza abasawo okutambuzanga obujjanjabi mu bantu nga bwe babasomesa n’obukulu bw’okugendanga mu malwaliro okufuna obujjanjabi.

blog comments powered by Disqus
NoImage
Olowooza Uganda Cranes eneekuba Ghana okuzza essuubi mu mitima gya Bannayuganda?
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo