Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Aga wano na wali
Omukungu wa Gavt. bamulumbye awaka ne bamukuba amasasi
Entebbe | Nov 01, 2013
Omugenzi Bisuti
  • mail
  • img



Bya MOSES NSUBUGA, PHILEMON KIRABO, GODFREY SSEMPIJJA  NE MAURICE KULABAKO


ABATEMU bakubye ekituli mu kasolya k’ennyumba ey’amategula ne bagwa mu kisenge ky’omukungu wa gavumenti owa Minisitule y’ebyenguudo ne bamukuba amasasi ataano mu kifuba ne baleka nga bamusse ne babulawo nga tebalina kye batutte.

Ying. Patrick Balamu Bisuti 63, aludde ng’akola mu Minisitule y’ebyenguudo ng’omumyuka wa kaminsona ow’ebyenguudo era mu 2010 bwe yaweza emyaka 60 ne bamuwummuza kyokka olw’obukugu n’obumanyirivu, aba Minisitule ne bakkiriza okumukozesa ng’ali ku kontulakiti.

Awasonze akasaale ky’ekituli abatemu we baayise.

BAAKOZESEZZA EMMUNDU ETAVAAMU DDOBOOZI
Ku ssaawa nga 8:30 ez’ekiro abatemu baabuuse ekikomera ky’ennyumba ya Ying. Bisuti eri ku Nambi Road mu Manyago Zooni okumpi ne Andelita Beach e Ntebe.

Obubonero bulaga nti amaka baabadde bagamanyi bulungi kubanga baabadde bamanyi n’ekisenge omukungu mw’asula.

Baakozesezza eddaala lye baasanze munda mu kikomera n’omuguwa gwe bazze nagwo, ne bawalampa ennyumba nga bateebedde mu kisenge omukungu mw’abadde asula.

Baggyeewo amategula nga musanvu ne bakubawo ekituli ne bakozesa emiguwa okugwa mu kisenge era baamutuuseeko tawulira.

Baamukubye amasasi ataano mu kifuba ng’agalamidde ku buliri era omulambo kwe gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.

Ying. Bisuti abadde asula mu kisenge kikye nga ne mukaziwe asula mu kisenge kya njawulo era bwe baamaze okukakasa nti bamusse ne bagenda butereevu ku kisenge ky’omukazi ne bakuba oluggi.

Omukazi naye yabadde mu tulo era teyawulidde masasi gaakubiddwa bba, wabula bwe yawulidde abakoona ekisenge kye, n’awawamuka nga bw’abuuza: B’ani abo?

Ennyumba y’omugenzi Bisuti bw’efaanana.

Abatemu baamutabukidde nga bwe bamulagira aggulewo era bw’agaana bagenda kulumenya bamulage enkola. Yalaajanye ng’akitegedde nti babbi n’ajja n’abaggulirawo nga bw’abeegayirira nti: Ka mbawe ssente zonna ze nnina, mutusaasire temututuusaako mutawaana.

Nnamwandu agamba nti mu kulaajana bw’ati yabadde takimanyi nti abatemu baabadde bamaze okutta bba kubanga baakozesezza emmundu etavaamu ddoboozi era bwe baamugambye nti baagala kimu; bisumuluzo ebiggulawo oluggi olufuluma n’olwa ggeeti bagende, n’abeebaza okubeera ab’ekisa.

Abatemu olwabawadde ebisumuluzo ne baggulawo ne bagenda. Ekyakubye Nnamwandu ensisi kwe kulaba oluggi lw’ekisenge kya bba nga luggule era bwe yasembedde n’alaba omusaayi mu kisenge era okumutuukako nga yakaze dda!

Yakubye enduulu abantu ne bakung’aana ne poliisi ne bagikubira n’ejja wabula ng’abatemu baabuzeewo dda.  Omugenzi abadde abeerawo ne mukaziwe n’abaana bataano era babadde mu bulamu obweyagaza nga buli kye beetaaga basobola okukyetuusaako.

Ekifo abatemu we baawalampiddeokuyingira mu nnyumba.

BASONZE KU NKAAYANA ZA TTAKA:
Omu ku batabani ba Ying. Bisuti ataayagadde kwatuukirizibwa yagambye nti kitaabwe abadde n’embiranye n’omu ku bagagga b’e Ntebe nga ziva ku ttaka lye baludde nga bakaayanira era bateebereza nti kino kyandiba nga kye kyavuddeko okumutemula.

Abalala bateebereza nti okuttibwa kwe kuyinza okuba n’akakwate ne famire ye kubanga kigambibwa nti abadde n’abakazi 4 n’abaana 17 ate ng’abamu tebakwatagana; kyokka mulimu n’abaagambye nti byandiba n’akakwate ku ttenda ne kontulakiti ezigabwa mu Minisitule y’ebyenguudo.

Omuduumizi wa poliisi y’e Ntebe, Edgar Nyabongo agambye nti basanze ebituli by’amasasi 5 agaamukubiddwa mu kifuba era obubonero obwasangiddwaawo bulaga nti teyafunye mukisa kwerwanako.

Yagasseeko nti kiteeberezebwa nti abatemu baakozesezza emmundu etavaamu ddoboozi (Silencer) kubanga okwetoloola amaka ga Ying. Bisuti wonna waliwo abakuumi naye tewali yawulidde kubwatuka kwa ssasi era n’aba famire abaabadde mu nnyumba tewali yawulidde masasi gavuga.

Abakungubazi mu nnnyumba.

blog comments powered by Disqus
Osemba Gavt. okussa omusolo ku masomero gw'obwannannyini?
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: