Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Buganda
King On The Throne: Ekitabo ku kuzzaawo Obwakabaka
Nov 10, 2013
  • mail
  • img

Bya EDWARD SSERINNYA

Ekitabo: King ON The Throne 

Omuwandiisi: Charles Peter Mayiga 

Emiko: 422

Akeekenneenya: Edward Sserinya

EKITABO ‘King On The Throne’ ekivvuunulwa nti ‘Kabaka Ku Nnamulondo’ kyawandiikibwa Katikkiro, Charles Peter Mayiga nga kiri mu Lungereza. 

Kiriko emiko 422 n’essuula 12, ng’omuwandiisi akyesigamya ku katabanguko akaaliwo mu 1966, amagye ga Obote bwe gaalumba Olubiri ne gawang’angusa Kabaka Muteesa II n’oluvannyuma mu 1967 obukulembeze obw’ensikirano ne buwerebwa mu Uganda.

Omuwandiisi era awandiika ne ku ngeri NRM gye yazzaawo Obwakabaka n’engeri Buganda gy’erwanye okweyimirizaawo okuva mu 1993.

Kirambika obufuzi bw’Abazungu okwo ssaako endagaano ez’enjawulo okugeza eya 1984 n’eya 1900 Buganda ze yakola n’Abazungu.

Mu Ssuula esooka eya ‘Buganda n’akatabanguko ka 1966’ Omuwandiisi alaga engeri erinnya Uganda gye lyava mu Buganda, okujja kw’Abazungu n’ebikolwa byabwe okwo ssaako ettutumu Buganda bye yalina okusinga ebitundu ebirala ebyali bigyetoolodde.

Mu kitabo ky’ekimu akulaga engeri Omulangira Mutebi gye yakomawo kuno okuziika ku kitaawe n’engeri Amin gye yali ayagala asigale kuno amuwe ekitiibwa ekya waggulu mu magye.

Ate era oluvannyuma akutambuza olugendo lwe okufuuka Kabaka, okwo gattako enkola y’Abazungu bwe baali baagala okufuula East Afrika eggwanga erimu.

Ayongera okukulaga engeri Amin gye baamumaamula ku bukulembeze, n’olunaku Mayiga lwe yasooka okusinkana Pulezidenti Museveni mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe mu 1991. Era annyonnyola engeri Omulangira Mutebi mu kiseera ekyo nga bamuyita Ssaabataka ng’alambula Buganda.

Omuwandiisi agenda mu maaso n’akulaga obukulu bw’Olukiiko n’engeri gye luzze lukyukamu, n’enjawulo eriwo ku mirimu gy’Olukiiko ne Kabaka.

Akatabo ‘King On The Throne’ bwe kafaanana.

Era alaga engeri Omulangira Mutebi gy’ava mu Bulangira ate n’afuuka Kabaka n’enteekateeka zonna okwo gattako enkiiko ezaatuula ng’Omulangira tannatuuzibwa ku Nnamulondo.

Omuwandiisi ayongera okukukubira ttooci n’akutwalako e Naggalabi awaali emikolo gy’Amatikkira mu 1993, n’akunyumiza kano na kali ebyaliyo ne pulogulaamu eyagobererwa ku mukolo ogwo.

Omuwandiisi yafuba okussaamu ebifaananyi ebigendera obulungi ku mboozi gy’anyumya kale ne kyongera okunnyikiza ensonga gy’aba annyonnyola mu ssuula ez’enjawulo.

Omuwandiisi akulaga ebyaddirira oluvannyuma lw’Amatikkira n’enjogera ya ‘Byoya bya nswa’ w’eva na lwaki. Engeri Obwakabaka gye bwateekawo ministule zaabwo n’engeri gye zaatandika n’okusoomoozebwa kwe zaayitamu okwo ssaako n’obukulu n’entambuza y’ebika mu Buganda. 

Akulaga engeri ezitali zimu ez’okutetenkanya n’okusala amagezi engeri Buganda gy’eyinza okukulaakulanamu ng’egaziya ennyingiza yaayo.

W’omalira okusoma ekitabo kino, nga kikwongedde okumanya n’okutegeera lwaki Buganda eri w’eri kati, kaweefube gw’ezze ekola mu mbeera ezitali zimu ne gy’eraga.

blog comments powered by Disqus
Ebyaffe ebyakomyewo bijja kuyamba Buganda okudda ku ntikko. Okkiriza oba owakanya?
Nzikiriziganya nakyo
Ssikiriziganya nakyo
Can't Say
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: