Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Zirabamuzaale
Omwana omulonde amwasimula bugolo
Nov 11, 2013
  • print
  • mail
  • img


ABASERIKALE abana abaayingira mu nsonga z’omwana okutuuka okukola endagaano buli omu ayagala mutwalo olw’omulimu gwe baakola balyoke bagende.

Kitaawe w’omwana aggyeeyo omutwalo n’agubawa bonna wamu mbu nga gwa ntambula wabula baguzize nti ezo ssente ntono nnyo.

 “Ssebo ggwe tamalira ffe biseera, ayagala kugenda mangu,” akulira abaserikale alidde mu ttama.

“Kambongere omutwalo gibe ebiri  tugendere awo,” omuzadde ayogedde ky’alina.

KO OMUSERIKALE: Ggwe azannya buzannyi naffe, ate ggwe tamanyi nti alina musango ya kuwa poliisi mawulire ya bulimba nti babbye ku ggwe mwana so mwana tabbye bubbi.

Olw’okwagala ebintu biggwe,  Ziraba yeekuba enju n’aggyayo omutwalo n’ekitundu bw’atyo n’asaba abagende n’ezo. “Wamma ggwe yeebale, kale ffe k’agende naye muntu ono alina buzibu ya maanyi.”

Abaserikale nga bamaze okugenda ne kitaawe w’omwana yasiibula n’akwata ery’e Ziroobwe.

Ennaku nga ziyiseewo nga ssatu, Nakijoba yatuma akawala mu maduuka kagende kamugulireyo amata mu budde obw’olweggulo.

Katonda by’ategeka, eyo ku maduuka gye kaasanga nnyina waako eyali anobye okumala ekiseera ewa kitaawe waako.

Akawala bwe bamala okukawa amata ne kakwata ekkubo eridda eka, kumbe ebbali awo we waali watudde nnyina waako yennyini eyali avudde e Kikyusa n’ajja e Wobulenzi  okubaako bye yeegulira.

Owange mwana ggwe Nabukalu, eno wajjayo otya, era obeera wa?” Nnyina w’omwana abuuza

KO NABUKALU: Tuli eri ku nnyumba ziri ne anti Naaki, taata ye yantwalayo mbeere naye kuba maama yali ambonyaabonya.

NNYINA: Oyo anti gw’ogamba abeera w’ani ye ng’olabika ng’omulwadde, kiki?

NABUKALU: Anti  yajja mulwadde naye kati ali bulungi era yang’ambye nti tuli kumpi kuddayo ewaffe.

   Nakijoba yalaba omwana aluddeyo n’amuwondera. Ng’atuuse ku katale yasinziira walako akawala n’akakuba oluba: Obwedda kaakutumira okola ki eno era oyo akumalira ebiseera y’ani?

   Akawala kaba kagenda gye bakayise nnyina waako n’akakwata omukono nga bw’akabuuza, olaga wa?

   Embeera eno yawaliriza Nakijoba okusembera  amanye ekigenda mu maaso. “Maama osiibye otyanno, onsonyiwe okulwisa omwana ono, ono mwana wange ow’omu lubuto lwange. Nneewuunyiza engeri gye mmusanze eno ku myaka gye nga bw’omulaba wabula abadde antegeezezza nti abeera ne anti Naaki, ndowooza ye ggwe nnyabo.

KO NAKIJOBA: Ye nze, erinnya lyange erijjuvu nze Nakijoba. Naye omwana abadde akunnyonnyodde engeri gye namufunamu?

MAAMA: Antegeezezza nti kitaawe ye yamukuwa mbu nga nnyina muggya wange tamuyisa bulungi.

NAKIJOBA: Kati obadde ogamba otya?

MAAMA: Mukazi munnange, naawe omanyi omwoyo gw’omwana nga bwe guluma, tugende ndabe w’abeera bwe ndifuna ekiseera olulala ndidda ne twogera ebisingawo.

Kiki ekyabaawo? Linda ebijja.

blog comments powered by Disqus
NoImage
Nnamungi w'omuntu atambulira ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti ategeeza buwanguzi oba kukyamuukiriza
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo