Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ebyemizannyo
Odur agenze Vietnam
KAMPALA | Nov 30, 2013
  • print
  • mail
  • imgBya DAVID KIBANGA

NGA Herman Wasswa yaakalemwa okufuna ttiimu emugula e Vietnam, muteebi munne mu KCC, Tony Odur yasitudde ku Lwokuna n’addayo (e Vietnam) atuukirize ekirooto ky’okuzannya ku mupiira ogw’ensimbi. 

Emu ku ttiimu z’agenda okugezesebwamu ye Sai Gon FC, eyasalako Geoffrey Kizito ‘Baba’ ne Moses Oloya. Okugenda kwa Odur kulese KCC mu kattu nga kati erina omuteebi omu (Herman Wasswa) kyokka nga be bagenda okukiikirira Uganda mu Africa Champions League.

Omuwandiisi wa KCC FC, David Tamale yakakasizza okugenda kwa Odur e Vietnam bwe yagambye nti, “Teyatubuulidde ttiimu mw’agenze naye yatusabye ne tumukkiriza.”

tumukkirize agezese emikisa gya pulofeesono ne tumukkiriza,” Tamale bwe yategeezezza.

Oluzannya lwa liigi olusoka lugenze okuggwaako nga Odur y’akulembedde abateebi ne ggoolo 11 nga yasembyeyo kuteeba nga bawangula URA FC (3-2) e Lugazi ku Lwokubiri.

Ate omuwuwuttanyi wa Cranes, Tony Mawejje yavudde mu IBV FC eya Iceland ne yegatta ku Haugesund eya Norway. 

Haugesund yamalidde mu kya 3 mu liigi ya babinywera eya Norway era esuubirwa okuzannya EUROPA omwaka ogujja.

blog comments powered by Disqus
NoImage
Nnamungi w'omuntu atambulira ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti ategeeza buwanguzi oba kukyamuukiriza
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo