Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Omukazi asuuddewo omwana n’agenda mu ddya eddala
KAMPALA | Jan 07, 2014
Namuddu ng''ali ne muzukkulu we eyakonziba
  • mail
  • img


Bya PHIONA NANYOMO

OMUKAZI asuddewo omwana we eyakonziba n’agenda afumbirwa mu ddya eddala. Bino byabadde mu kabuga k’e Mateete mu disitulikiti y’e Ssembabule, Margaret Nangozi 29, bwe yasuulidde nnyina Veronica Namuddu abaana babiri okuli omuto Kizza Namanda 2 ne Enock Tumusime 13.

Abakulembeze mu kitundu n’abataka bavuddeyo ku mbeera y’abaana bataase obulamu bw’abwe.

Namuddu mutuuze ku kyalo Nakasenyi Kiteredde mu ggombolola y’e Mateete mu disitulikiti y’e Ssembabule agamba nti talina kya kubaliisa ate nga n’envuza zibaluma.

Namuddu yategeezezza nti okuva maama w’abaana bano abasulawo taddanga era bwe bamutumira abantu okujja abategeeza nti talina budde.

Akola ku nsonga z’abaana n’amaka ku poliisi y’e Mateete, Beatrice Nassanga yategeezezza nti poliisi etandise okunoonya Kyagera ne Nangozi bavunaanibwe omusango gw’okusuulawo abaana.

blog comments powered by Disqus
Ebyaffe ebyakomyewo bijja kuyamba Buganda okudda ku ntikko. Okkiriza oba owakanya?
Nzikiriziganya nakyo
Ssikiriziganya nakyo
Can't Say
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: