Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ag’eggwanga
Njegula ye kitaawe wa Paddy Bitama
Kampala | Jan 19, 2014
Omugenzi Paddy Bitama ne kitaawe Peter Njegula
  • print
  • mail
  • img



Bya MARGARET ZIRIBAGGWA, JOSEPHAT SSEGUYA NE PROCOPIOS LUMU
TEWAKYALI kubuusabuusa !! Ebivudde mu musaayi bikkakkasizza nti munnakatemba Paddy Bitama mwana wa Peter Kasozi Njegula.

Kino kitegeeza nti amannya ga Bitama amatuufu ye Paddy Kasozi ow’e Ngabi so si Paddy Ssali.

ABASAWO BAAYISE ENJUYI ZOMBI NGA NE POLIISI W’ERI:
Eggulo ku Lwomukaaga, abooluganda ku njuyi zombi baayitiddwa poliisi ne bakung’aanira e Wandegeya we baabaggyirako omusaayi ku Government analytical laboratory.

Peter Njegula yagenze ne mutabani we Paul Mulindwa okumanya ebivudde mu musaayi ate abooluganda lw’omugenzi Tamale baakiikiriddwa omusika we Richard Ssali eyabadde n’omusika wa maama wa Bitama, Rosemary Namatovu.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi, Ibin Ssenkumbi naye eyabadde mu lukiiko luno yagambye nti enjuyi zombi baasoose kuzibudaabudda nga tebannababuulira bivudde mu musaayi era n’oluvannyuma ne bababuulira.

Bwe baamaze okubagamba ng’omuntu omulala yenna ab’oludda lwa Tamale tebaabadde basanyufu wabula bakkaanyiza n’ebyavudde mu kukebera omusaayi.

Baagambye nti bajja kwetaba mu kuziika kubanga newankubadde Bitama kitaabwe si y’amuzaala naye mwana wa nnyabwe era bajja kumuziika nga muganda waabwe.

Tamale ne mukyala we Flora Nalubega Nalukwata maama wa Bitama.

BITAMA AZIIKWA NKYA:
Njegula yagambye nti ebyavudde mu musaayi tebimwewuunyisizza kubanga abadde akimanyi bulungi nti Bitama mwana we okuva Ssanyu bwe yamumugamba nga yaakamuzaala kubanga ne bwe yatuuka okumugemesa kaada yassaako mannya ge.

Mu kiseera kino ali mu ntegeka za kuziika era asazeewo nti okuziika kujja kubaawo ku Mmande nga January 20.

ENTAANA EYASOOKA OKUZIMBIBWA:
Bitama nga yaakafa baasima entana e Bbira gye baaziika kitaawe Tamale ne nnyina Ssanyu Nalukwata era ng’abaayo babadde balindiridde kuziika essaawa yonna.

Obulombolombo bw’Abaganda entaana bwe batagiziikamu muntu bagisimbamu kitooke nga bwe bagenda okukola ku ntana ya Bitama ne wankubadde nga yabadde ezimbiddwa nga ngeri ey’omulembe.

Olutalo lw’okukaayanira Bitama lwatandika ku Lwomukaaga nga January 11, amangu ddala nga yaakafa Peter Njegula bwe yavaayo n’ategeeza nga Bitama bwali mutabani we.

Abooluganda lwa Bitama omuli baganda be ne bamaama baakiwakanya nga bagamba nti tebamumanyi.

Njegula yagamba nti tayinza kuleka musaayi gwe kuzaawa n’asalawo ensonga okuzitwala ku poliisi eyalagira abooluganda lwa Bitama bakeberebwe obutaffaali (NDA), okusobola okuzuula taata omutuufu.

Okukebera kwawedde era ebyavuddemu byafulumiziddwa ku Lwomukaaga nga biraga nti Njegula ye kitaawe wa Bitama omutuufu.

u kusooka ng’ebivudde mu musaayi tebinnavaayo, nnyina w’omugenzi Ssanyu Nalukwata, ayitibwa Nives Nalwadda 67, omutuuze w’e Muyomba mu disitulikiti y’e Wakiso yabadde ayogedde bwati ku muwalawe Ssanyu: ‘Muwala wange Ssanyu Nalukwata yafuna olubuto olusooka ng’ali mu P.6 bwe yali asoma Mulago Primary School ate ye Sam Tamale eyalumufunyisa ng’asoma ku Kyaggwe Senior Secondary School. Amaka gaffe gaali ga muliraano n’aga bazadde ba Tamale e Makerere Kavule.

Nze olw’okubanga nakolanga mu katale e Nakasero nga nkomawo kiro, saasooka kukiraba wabula abantu abaali bamanyi ennyo embeera z’abaana abawala be bang’amba nti muwala wange alabika ali lubuto olwo nange ne ntandika okumwetegereza era ne mmulaba ng’ali lubuto.

Mu kiseera kino nali nkitegeddeko nti ayagala Tamale kubanga yali muvubuka wa malala kale ng’abawala bamwettanira.

Nagenda mu maka g’omwami Amos Luzze Mukasa eyali kitaawe wa Tamale ne mbagamba nti ng’enda kubavunaana olwa mutabani waabwe okufunyisa muwala wange olubuto.

Kino bwe baakimanya Ssanyu ne Tamale ne babulawo era ennaku ezaddako saddamu kubalabako, oluvannyuma nakizuula nti baali muwala wange bamuddusizza nga bamututte Bulemeezi.

Nadduka bunnambiro ne ng’enda ku poliisi e Wandegeya wabula taata wa Tamale yantuukirira mangu ddala n’ansaba obutagenda mu mbuga z’amateeka nti omuwala baali bagenda kumukomyawo.

Waayitawo ennaku ntono nali nva okukola e Nakasero okutuuka nga Ssanyu mmulaba mu ffumbiro. Saamunyega, ne tugula ekita ky’omwenge okumalawo amawemukirano ebyo ne bikoma.

Nga wayiseewo akaseera Tamale ng’alaba tasobola kufuna Ssanyu, yafuna ennyumba okumpi awo mu Makerere era amangu ddala Ssanyu yazaala omwana eyasooka Richard Ssali.

Ssali yali tannatuula Ssanyu n’afuna olubuto olwa David Kiggundu naye yali tannabaako we yaabadde amangu ddala yafuna olwa Paddy Bitama abo be baana abaazaalirwa e Makerere.

Tamale ne mukayala we Flora Nalubega maama wa Bitama bwe baali ku mbaga yaabwe.

Tamale ng’akozeewo ku busente bwe yaggya mu kutunda eddagala e Nakasero yaddamu buto okusoma ku Kyaggwe Senior Secondary.

Ssanyu naye yamukolera akabookisi n’atandika okutunda eddagala e Nansana. Ssente ze baafuna bombi Ssanyu yazuula ekibanja e Nansana era ne bazimba. Baddamu okuzaala abaana Ronald Luzze, Henry Mumbago, Ivan Kiggundu, Kenny Lukwago ne Sam.

Tamale yafa mu 1994 era n’amulekera abaana abasoba mu munaana okwali ne bannyina bal¬amu ba Ssanyu nga nabo mukaziwattu y’alina okubalabirira.

Mu 1995 Ssanyu yali atambula mu kibuga n’asanga omusajja gwe yali yayagalako edda nga ye Peter Njegula. Ono yamusanga ng’alina ssente ezitaliiko agamba naye jjukira nti Tamale yali yafa dda era ng’obuvunaanyizibwa bw’abaana abasoba mu 8 buli ku ye yekka.

Ssanyu yannyumiza nti yagamba Njegula nti bwe baayawukana yamuleka alina olubuto lwe era n’azaala omwana nga mu kiseera ekyo yali ayagala ssente ezimuyambako.

Bwe yakomawo awaka olwo kwe kufumba omutwe alabe engeri gy’ayinza okufuna ssente ku musajja ono ziyambe abaana be yalina awaka.

Okumusisinkana waali wayiseewo emyaka 13 bukya basembayo kulabagana era bwe yatunula mu baana be yalina n’akuba ekifaananyi ky’omwana ayinza okufaanana Njegula ng’alaba Paddy ye mwana ng’agwa ne mu myaka 13.

Ssanyu yasitula Paddy n’amutwala ewa Njegula era yantegeeza nti baakola n’omukolo. Ssanyu yagenda mu maaso n’okufuna ssente okuva ewa Njegula era zaamuyamba nnyo kyokka nze bwe namubuuza lwaki Paddy yamugabira Njegula yang’amba nti yakikola kubanga teyalina wadde akasente nga n’abaana alina bangi.

Ssanyu yafa nga Paddy alina emyaka 15 era yaddukayo ewa Njegula n’akomawo mu maka ga Tamale naye nga guno gwali gwakubiri kubanga yali yaddukayoko nga maama we tannafa naye Ssanyu n’amusindiikiriza n’amuzzaayo.

Ssanyu bwe yafa Njegula teyalabikako wadde mu kuziika kino nakyewuunya omusajja okufiisa eyali mukaziwo n’otogenda wadde okuziika!

Okuva olwo Paddy tubonyeebonye naye mu kusoma nga Senga Nantongo ttaamu eno bw’atoola eddako nze ntoola ne tumuweerera okumutuusa mu S.3 nga takyayagala kusoma.

blog comments powered by Disqus
NoImage
Olowooza Uganda Cranes eneekuba Ghana okuzza essuubi mu mitima gya Bannayuganda?
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo