Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ag’eggwanga
Omuyimbi Fiona Mukasa ayawukanye ne bba
Feb 12, 2014
Mukasa ne Fiona
 • print
 • mail
 • imgBya JOSEPHAT SSEGUYA NE JOSEPH MUTEBI

Bangi beegomba Fiona Wamala Mukasa, omuyimbi w’ennyimba z’eddiini - si lwa kitone kya kuyimba kyokka, wabula n’okwewangulira Omusumba Godfrey Mukasa ne bakola amaka amanywevu mwe bazaalidde abaana bana.

Ebyo byonna bikomye! Fiona yayawukanye ne Mukasa n’afuna omusajja omulala, Julius Ssekawunde azaalibwa e Ggaba, gwe bagenda okugattibwa naye. Kigambibwa nti Fiona, abeera e London (Bungereza), kkooti yamukkirizza okwawukana ne bba.

Fiona, muwala w’omuyimbi omwatiikirivu omugenzi Elly Wamala yabadde kuno mu ggandaalo lya Ssekukkulu okutegeeza nnyina, Druscira Wamala ow’e Makindye-Luwafu, enteekateeka z’okwanjula n’embaga yaabwe ne Ssekawunde.

Nnyina amulese yeesalirewo

Bukedde yayogedde ne maama wa Fiona  eggulo n’akakaksa nga muwala we bwe yayawukana ne Paasita Mukasa olw'obutakkaanya n’afuna omulenzi amuwa emirembe.Yannyonnyodde nti muwala we yamuyitirayitiramu ku buzibu obwali butuuse okumussa ennaku y’obufumbo n’amutegeeza nga bw’amuviiridde afune ku ssanyu.

Druscila Wamala, maama wa Fiona.

Agamba nti waayita ebbanga ttono n’amutegeeza nti alina omulenzi we gwe yafunye agenda okumumalako ennaku era wano nnyina n’akirekera Fiona yeesalirewo. Kyokka yagambye nti kimuluma Fiona okwawukana ne Mukasa kubanga abazadde beetaaga kubeera wamu okukuza abaana obulungi.

Okumala ekiseera, wabaddewo oluvuuvuumo ku Fiona okwawukana ne Mukasa kyokka nga babiwakanya era nga September 1, 2012, Fiona yafulumira mu New Vision ng’alaga omukwano gwabwe bwe guli gguluggulu nga tebasobola kwawukana olw’abaana baabwe n’obuweereza bwa Krisito.

Buli omu alumiriza munne obwenzi

Balina ekkanisa bbiri eya Makindye Christian Centre mu Kampala ne Christian Centre Church and Miracle Faith Ministry e London.Mu kiseera kino Fiona ali n’abaana be abana okuli; Enock, Rebecca, Elijah ne Joshua.

Munnayuganda abeera mu Bulaaya eyeeyita Kakensa yatandikawo omukutu gw’ebyamawulire ku kompyuta, wiiki ewedde  yataddeko amawulire ga Fiona okwawukana ne Mukasa. Fiona yayogedde ekyabatabula n’agamba nti emyaka gyonna gy’amaze mu ddya tafunye mirembe. Mukasa tamuwa budde yeemalira ku mirimu gya kkanisa ate takomye awo n’agattako okuganza abakazi abalala ate ng’awaka omukwano gwe teguwera.

Fiona agamba nti abasumba abenjawulo mu Uganda ne Bungereza bafubye okubatabaganya kyokka Mukasa n’atakyusaako. Olwo Fiona, eyafumbirwa nga wa myaka 23 gyokka, n’asalawo naye okwenoonyezaayo omusajja anaamumalako ennaku.

Paasita Mukasa naye alumiriza nti byonna ebyogerwa Fiona byekwaso kubanga yali tannakwana Ssekawunde, yalina abasajja abalala okuli Matthew ne Julius bonna ababeera e London era Fiona yakkiriza nga bw’abaagala ne yeetondera Mukasa.

Abafumbo bano baatuuzibwa mu bigambo era kigambibwa nti Fiona yategeeza abasumba nti ekyamutwala mu bwenzi ye Mukasaokuba n'abakazi abalala gye yamaliranga obudde n’atatuukiriza by’awaka ng’abawala bano kuliko Solome Namuyaba.

Julius Ssekawunde, eyasigudde Fiona.

Kyategeezeddwa nti Fiona yagezaako okukozesa abasumba ba kuno okuli Robert Kayanja owa Rubaga Miracle Centre, eyabagatta, kyokka n’atayambibwa, bwe byalema n'atuukirira Solomon Male owa Arising for Christ.

Male yategeezezza Bukedde nti Fiona aludde ng’alina obuzibu ne Mukasa kyokka n’Abasumba abasinga wano mu Uganda lwa kubikkako, naye bali mu bwenzi.

Yagambye nti Fiona yamuweereza obubaka ku kompyuta ng’amutegeeza bw’akooye Mukasa.

Wabula Male agamba nti yasalawo ensonga okuzikwata empola kubanga zeekuusa ku bufumbo. Ekirala, bwe yeetegereza ebyawandiikibwa Fiona ng’alaba akyayagala omusajja we.

Fiona yakkirizza nti bwe yasalawo okwawukana ne Mukasa yali agenda kubeera ne Mathew kyokka Mukasa bwe yeetonda olwo n’asalawo okuleka Mathew badding’ane ne bba.

“Mukasa yagenda mu maaso n’obwenzi ate nga nange nnali sikyaddayo wa Mathew kwe kwagala Julius,” bwe yategeezezza Kakensa.

Fiona kati aweza emyaka 42 ate Julius ali mu 30. Baakyala mu bazadde ba Julius ne basiima Fiona ate n’abazadde ba Fiona ne bamukkiriza okugenda mu maaso ne Julius.

ABASUMBA ABaawukanye mu bufumbo:

 • Judith Babirye yayawukana ne bba Samuel Niiwo.
 • Omusumba Steven Ssozi owa Glad Tidings ku Kaleerwe yaddamu n’awasa.
 • David Kiganda owa Christianity Focus Centre mu Kisenyi yayawukana ne Hadijah Nassejje. Yazzeemu okuwasa omukyala Omuzimbabwe mu 2013.
 • Hakim Kimbowa yagenda Bungereza.
 • Nnabbi Samuel Kakande yayayawukana ne mukyala we Joyce mu 1996 n'addamu n’awasa.
 • Imelda Namutebi owa Liberty Worship Centre e Lugala: Bba, Kula, yayawukana na mukazi mulala.
   
blog comments powered by Disqus
NoImage
Nnamungi w'omuntu atambulira ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti ategeeza buwanguzi oba kukyamuukiriza
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo