Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ag’eggwanga
Fiona Wamala ayogedde ensonga ezaamwawukanyizza ne bba Mukasa
Feb 17, 2014
Fiona Mukisa
  • print
  • mail
  • img



 

 

OMUYIMBI w’ennyimba za ‘Gospel’ Fiona Wamala (42), muwala w’omuyimbi omwatiikirivu omugenzi Elly Wamala atangaazizza ku nsonga azamuviiriddeko okwawukana ne bba, Omusumba Godfrey Mukasa gw’alinamu abaana bana n’alaga nga bwe bateekateeka okugattibwa mu bufumbo n’omusajja omulala, Julius Ssekawunde, azaalibwa e Ggaba, Kampala.

Omusasi waffe yanyumizzaamu ne Fiona Wamala mu ku Lwomukaaga n’annyonnyola ensonga nga bwe ziri;

Kiki ekyaviiriddeko obufumbo bwo ne Paasita Mukasa okusasika?

Fiona Wamala: Tetukwatagana, okuva lwe twafumbiriganwa ate nga Baibuli egamba ababiri tebasobola kutambulira wamu okuggyako nga bamaze kukkaanya. Buli omu alaba nti munne amutwala mu geyeena.

Anti empeera y'ekibi kufa kati wateekwa okubaawo ensigo y'ekibi ebareetera obutakwatagana. Nsigo ki eyo?

Fiona Wamala: Kubira Paasita Kayisaali, eyali beesitimaani ku mbaga yaffe akubuulire ekituufu. Nneetaaga okugolola ensobi ezaafulumira mu mawulire agamu, nzikirizibwa?

Ye nnyabo, era y’ensonga lwaki tukwebuuzizzaako tufune okutangaazibwa n’okumanya.

Fiona Wamala: Kale. Ekisooka omwami Mukasa ky’agamba nti njagala abasajja basatu omulundi gumu si kituufu 100 ku 100. Mukasa omusajja gw’ayogerako (Mathew) wadda nge ne kitange tannafa mu 2001 era naye (omugenzi Wamala) yakimanyaako nti nnali ng’enda kwawukana ne Mukasa olw’obutakwatagana. Kuba bwe yali azze okuweereza mu Kkanisa y’e Uganda ( Makindye Christian Centre mu Kampala) yafunirayo omukazi omulala, ensonga ne nzigamba taata nga nange bwenfunye Mathew kyokka taata n’angumya okunywerera ku Mukasa. Nnali nsazeewo okunoba kyokka n’ansuubiza okukyuka n’agattako nti ye takkiririza mu Katonda wa nnaku kuba akimanyi nti Mukama Yesu ayagala tusanyuke mu bufumbo, bwentyo ne nzikiriza okusigala mu bufumbo.

Wabula mu 2012 ng’alemeddwa okukyuka nnakubira aba famire yange wamu n’abooluganda lwe nga nneemulugunya ku Mukasa obutakuuma bwesigwa era bonna teri atakimanyi okutuusa lwe nnasoma mu Bayibuli ng’egamba nti Mukama ayagala tusanyuke tayagala tunakuwale, ne nziramu ne mmugamba nti obufumbo ng’enda kubuta kuba oyinza okunnemasa eggulu ate nga nkugumirikiza ebbanga ddene . Emyaka gino gyonna mbadde nsaba Mukama okufuna omuntu anjagalira ddala.

Mu April wa 2012 nnasisinkana Julius Ssekawunde, eyali Omulokole naye yaddiriramu mu by’omwoyo. Nnali sisuubira nti tuyinza okugwa mu mukwano omuzibu ne Julius era bwentyo ne mmuwa omutima gwange wadde nga wabaddeyo okusoomoozebwa kwamaanyi ku njawalo y’emyaka gyaffe kyokka ye (Julius) nga takirabamu buzibu era mbadde naye okuva 2012 okutuusa essaawa ya leero tweyagala.

Ebyo eby’edda Mukasa by’agamba nti nze nnasooka okuganza abasajja si bituufu agenderera kuvumaganya linnya lyange kuba naye abakazi be yaganza mu Uganda gye bali era bakimanyi naye nze saagala kuboogerako. Kyenjagala ku kunyweza omukwano gwaffe ne Julius yekka saagala kudda mu bikadde eby’edda kuba byayitako. N’olwensonga eyo nteeseteese okumanyisa abawagizi bange bonna sitoole yange nga njaguza emyaka abiri (20) mu nsiike y’okuyimba n'obuweereza.

Naye ddala ku mwenna ani yasooka okubaliga?

Fiona Wamala: Kati nze ekyo ekyange sikiyita kubaliga, nkiyita kukoowa mbeera kuba bwe yabaliga omulundi ogwasooka nnali nsazeewo okuta obufumbo twawukane kyokka n’aneegayirira. Mwami Mukasa bye yakola abimanyi era oluvannyuma yangamba nti twawukane mu maaso g’abaana baffe ng’agamba nti tasobola kuyingira ggulu ng’ali nange. Baibuli egamba bwe bakugobanga ogendanga, Mukasa yagamba baganda bange bonna nti takyanneetaaga era bangi b’agambye mu Bungereza nti yangoba naye Mukama yebazibwe, bw’akanyuze waliwo ateze emikono n’annonda , sso sirowooza nti annonze alina omusango gwonna. N’olwekyo mmusabe anveeko andeke kuba sirina mutawaana naye.

Naye Mukasa akulumiriza nti ggwe wasooka okubaliga bwe waganza Matthew?

Fiona Wamala: Matthew okunjagala yamala kulaba nga Mukasa ampisa bubi ate oluusi ng’answaliza ne mu lujjudde lw’abantu. Naye ssebo ekyo Katonda si kye yatuyitira. Okusoka Baibuli egamba nti abasajja mwagale bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa, n’abakyala mugondere ba bbammwe bwe mutyo, kati omukazi okugondera omuntu amubonyaabonya kizibu nnyo okuggyako nga fenna twafumbirwa kulaba nnaku!

Alina kye yakola nga yaakampasa, ye abimanyi mugambe akwate Baibuli ayogere amazima oba ddala teyakola ebyesittaza mu bufumbo. Kati bw’atyo bw’aliwoza mu maaso ga Katonda, okugamba nti nze saali mwesigwa, kati lwaki ye teyasigala mu butuukirivu wabula n’adda mu kuganza abakazi abalala? Kati awo nno fenna wegutusingira era bwe guba musango ewa Katonda babagoba.

Fiona Wamala lwe yakyala mu bakadde ba Ssekawunde

Kati tukitwale nti mwagattululwa ne Paasita Mukasa mu butongole?

Fiona Wamala: Twayawukana ne Mukasa mu 2012. Bishop Musisi ye yatugatta mu mubuuze kuba nnamuyitiramu ne mmutegeeza nga Mukasa bw’annamye era obufumbo ng’enda kubuta kyokka n’antegeeza nti bwemba nkooye embeera ndi wa ddembe okukita. Kugattululwa ki okusinga okwo? Kuba Musisi ye yatugatta. Ekyo tekyammalira nnatuukirira eyali kalabaalaba wa Mukasa soma beesitimani ne mbimuyitiramu n’antegeeza nti bukyanga atulaba tetukwatagana tuleme kukaka.

Omusumba Robert Kayanja naye namuyitiramu ku nsonga n’antegeeza nti ‘gende mu maaso n’okuyimba kuba oli yakusanga oyimba tofaayo’. Nagamba ne Paasita Kalooli n’ang’amba; ‘owange nange ntabuddwa’. Apostle Bunjo naye ne mmugamba ng’azze e London kyokka ye teyanyega oba yamutya simanyi. Nategeeza ne ku mulamu wange abeera mu America wamu ne Wamala (omusika wa Elly Wamala) n’agamba nti guma oli ye taata w’abaana bo.

Nannyonnyola abakadde b’Ekkanisa yaffe ( Miracle Faith Ministry e London) nga teri kanyego, ne ntegeeza ne ku baana bange nabo nga tebalina kyakukola. Mu butuufu naguma nga n’abamawulire bwe bambuuza ekigenda mu maaso mbikkako ku lw’erinnya lya Mukama. Nagamba bayimbi bannage nabo nga badda mu kunsaasira, ne nnoonya anaayogera ne Mukasa n’abula ng’alemye okukyuka.

Abo be nkumenyeddeko be nnayogera nabo batono, kuba gwe nnasembayo okwogera naye , eyali mulamu wange mu Amerika yankutula omutima, teyatawaana kumpuliriza yadda mu kuwolereza muganda we Mukasa. Nnalabe essanyu n’emirembe bimpeddeko ensonga ne nzitwala mu maaso ga Katonda ate nga n’abaana bange si basanyufu olw’embeera eyo . Naye nze ndowooza ngezezzaako era nfubye okutambula obulungi ne Mukama.

Ekkanisa y’e Makindye gye nnatandikawo yagingobamu, owange ebintu ne mmanya nti bikaaye.

Abaana bammwe ensonga z’obutakkaanya mu bufumbo bazimanyiiko?

Fiona Wamala: Bakimanyi naye banjagaliza kuba mu ssanyu. Naye ate saagala kuboogerako yadde okwatuukiriza amannya gaabwe, nsonyiwa kuba si basanyufu n’embeera eno. Nkusaba eky’abaana tukisse ku mabbali . Nkwegayiridde abaana tubaggye mu nsonga zino.

Mu kifaananyi Godfrey Mukasa

Kale eky’abaana nkivuddeko. Bagamba mbu ggwe ne Julius mugenda kugattibwa mu bufumbo obutukuvu era mutegeka mbaga?

Fiona Wamala: Ani ali emabega wa kino abawa amawulire agataliiko mutwe na magulu? Naye yo embaga kituufu egenda kubaawo mu April era kaadi z’embaga zinaatera okuggwa naye tugenda kuyita abantu batono ddala.

Embaga yo ne Julius egenda kubeera London oba wano e Uganda?


Fiona Wamala: Awo Uganda ssebo era omuteesiteesi yatandise dda twagala kino ekiriwo tukisaanikire na mbaga

Singa Mukasa avaayo n'alaga nti okyali mukazi we mu mateeka , olowooza kino tekiyinza kutataaganya mbaga yammwe? Sigambye nti kibeewo era kiddiri eri.

Fiona Wamala: Tekisoboka kubaawo, tasobola kuyimiriza mbaga kuba yagamba buli omu nga n’abaana bange mw’abatwalidde nti tanneetaaga.

Nze sirina mutawaana ku ye era bw’awasa sifaayo kubanga yagamba ayagala kuba na ssanyu ng’ali yekka. Njagala kumulekere eddembe akole ky’ayagala.

Olowooza ekyokuddamu okufumbirwa tekiikose emitima gy’abamu ku bawagizi bo?

Fiona Wamala: Kati Baibuli esomesa nti Katonda yagamba si kirungi omuntu okuba yekka. Sirowooza nti nsobola okuba nzekka, sisobera kuba nneetaaga okuba n’omuntu. Ekirala buli gwe nnaatambulanga naye abantu bajja kumunjagaza ate nga bw’oba tofumbiddwa mpeta toyingira ggulu. Kale saagala kusubwa ggulu. Nange ekyembaga sandikyagadde naye bw’otafumbirwa mpeta Baibuli egamba nti obeera mu bwenzi, sso mu buli ngeri nteekeddwa okuddamu okufumbirwa.

Fiona Wamala ne nnyina Drucila Wamala



Emyaka 20 gy’ogenda okujanya ogimaze mu bufumbo oba buweereza?

Fiona Wamala: Gya buwereeza.

Kati abaana babeera n’ani? Ggwe oba kitaabwe?

Fiona Wamala: Abaana bange baggye mu nsonga zino. Obutakkaanya buli wakati wange ne kitaabwe. Nkwegayiridde toboogerako. Ekirungi bonna twogera nabo era tukolagana.

Okufumbirwa Julius tekiikose obuweereza bwo naddala okuyimba kuba abantu babadde bakumanyidde ku Mukasa?

Fiona Wamala: Katonda yekka y’amanyi kuba ebbanga lyonna mbadde nsobeddwa olw’ebibadde bigenda mu maaso, naye nsuubirwa embeera okukyuka ku lw’ekisa kya Katonda. Eno ye kaadi (omukisa) gwange ogusembayo , bwe binnaagaana ne Julius amazima gali nti nja kulinda okutuusa Yesu lw’alidda kuba kino nakisuubiza ne Katonda si bantu bokka.

Kati abawagizi bo obawa bubaka ki?

Fiona Wamala: Obubaka bwempa abawagizi bange naddala abaami abaweereza ba Katonda Abalokole mwenna mukole nga Baibuli bw’egamba. Mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa, muleme okubeesittaza era mubeere ba mazima. Nze nzikiriza kino kye kiseera okukyuka ne tumanya ensobi zaffe ne tukkiriza nti tuli bakyamu era ddiiru yaffe ebeere ya kugenda mu ggulu sso si kusanyusa muntu yenna.

Tukulembera ebibiina naye bwe tutaba basanyufu ng’abakukulembeze tetusobola kuwa batugoberera ssanyu kuba tekiba kyakulabirako kirungi gye bali.

Abawagizi bange bonna mbaagala nnyo era nneenenya wonna we tubeesittazza kuba era tewali atuukiridde buli omu afuba bufubi.

Nkubiriza n’abo abateesa okuva mu Bulokole ku lwaffe, Baibuli egamba nti ggwe ayagala Yesu weetikke wekka omusaalaba gwo omugoberere. Kabaka Daudi yagamba nti nnaayimusanga amaaso gange okubeerawo kwange kuliva wa? Kuva eri Katonda eyatonda eggulu n’ensi oyo ataliganya kigere kyo kusagassagana (Zabbuli 121). Oyo akuuma Yisirayiri tabongoota so teyeebaka. Kale sitoole ekomye awo mutusonyiwe tulisisinkana mu ggulu, si mu geyeena.

Ekyo nno kizzaamu amaanyi Musumba Fiona!


Fiona Wamala: Wabula abantu bagambe siri Musumba, ndi muweereza wa Mukama. Omanyi abantu bwe bakulaba ng’obuulira enjiri nga bakutuuma Paasita naye saagala kweyita Musumba ate nga nnyimbako ne mu bbaala so nga nnyambala n’empale. N’olwekyo ndi muyimbi ‘artist’ siri Paasita.

Fiona Baibuli y’emu esomesa ku kusonyiwa. Mukasa osobola okumuddiramu singa yeenenya n’akyuka era n’akwetondera?

Fiona Wamala: Nze namusonyiwa dda era kati nziramu buzzi kumusonyiwa kuba asiize erinnya lyange enfuufu ng’ayogera ebitali bituufu nti nkyanga abasajja bana omulundi gumu. Sigambye nti muntu mubi nnyo wabula twalemagana. Kati saagala kumukaluubiriza. Ku ky’okwenenya simanyi oba ddala alaba ensobi ze naye kyenzijukira olunaku lumu mu 2013 yankubira essimu nga nnakava ku nnyonyi n’agamba nti nkitegedde mbadde nkuyisa bubi. N’olwekyo yakkiriza ensobi ze mu bufumbo. Kale abadde ampisa bubi, kati buli omu ate munne mu mirembe kuba emyaka gino gyonna mbadde mu maziga nga teri amanyi, nga ntabuddwa ne nneeyagayira Mukama n’ampa ekyawandiikibwa mu Isaiah 1:18 ekigamba nti jangu tuteese ffembi.

Abantu abamu beewuunya mbu Julius gwe wafunye nga muto bulala! Okyogerako ki?

Fiona Wamala: Tugambire abantu bonna abatwewuunya okwagalana ne Julius nti naffe bennyini bwe tutyo bwe twewuunya engeri gye tweyagalamu. Kale kisoboka abantu okwewuunya kuba Julius yeewuunya ate nange nneewunya okumwagala!

Julius alina emyaka emeka?

Fiona Wamala: Awo mumubuuze agibabuulire kuba nange teyasooka kung’amba myaka naye kyemmanyi ali mu 30.

Ggwe olina emyaka 42 olowooza Julius owa 30 taakusuulewo anoonye ab’emyaka gye?

Fiona Wamala : Julius si mukyamu. Nsobola okumuyita Omusamaliya omulungi, kuba yansanga nkubiddwa n’annonda, era akimanyi nnina abaana nga musinga n’obukulu naye ye agamba ekyo takifaako.

N’olwekyo sirowooza nti ayagala ssente ng’abamu bwe babijweteka kuba singa bwe guli singa kati tulina emmotoka n’ennyumba ate era tayagala bipapula, yandibade ang’amba bulijjo nti ntwala ebweru. Julius yakola enjawulo mu bulamu bwange era mwenyumirizaamu nnyo.

Julius Ssekawunde mu kifaananyi

Mukama bw’aba alina amaanyi ng’ayagala twawukane asobola okukikola naye tulemeddwa okuteng’ana kuba buli muntu ayagala munne ate tetegeeragana era tukwatagana.

Ate ebigambibwa nti Mukasa alina abaana mu bakazi abalala bituufu?

Fiona Wamala: Bituufu alina abaana mu bakazi abalala si bange bokka. K’ayongere obutakuuma bwesigwa kasita nze nnina abaana bana mu ye yekka si mu basajja balala. Ka nkyatule nti answazizza nnyo mu baana bange olw’ebyo by’akoze kyokka kye nneebaliza Mukama kiri nti abaana bange bampa essanyu.

Kale weebale nnyo olw’obudde bw’otuwadde n’okutangaaza. Naye olowooza Julius anaatubuulira ku nkolagana yammwe nga tumubuuzizza?

Fiona Wamala: Ajja kwogera kuba ali Uganda (Ggaba) era alina ebigambo by’awandiise mu mukutu ggwe ogwa feesibuuku ebiraga nti anjagala, sso sisuubira nti mutiitiizi okusirika . (Ebigambo Julius bye yatadde ku feesibuuku ye ebyabadde mu Luzunga nga bigamba: ‘Nja kwagala mukyala wange Fiona olubeerera sifaayo ku bigambo byabantu bye bawandiika mu mawulire mbasekeredde .....)


 

blog comments powered by Disqus
NoImage
Olowooza ekibonerezo ekikaligiddwa Uwera okusibwa emyaka 20 kimugwanidde?
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo