Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Amawulire
Bukedde ayogedde ne bba wa Fiona
Gaba, Kampala | Feb 18, 2014
Fiona ne Julius
  • print
  • mail
  • img



Bya JOSEPHAT SSEGUYA ne FRANK LUKWAGO
BUKEDDE azudde bba w’omuyimbi Fiona Wamala, 42, omupya, Julius Ssekawunde, 31, n’annyonnyola engeri gye yakwanamu Fiona bakira gw’ayita Fifi n’enteekateeka zonna ku mbaga yaabwe.

Julius agamba nti, Fiona yasooka kumulabira ku mukutu gwa facebook nga mulungi muzibu kwe kumuweereza obubaka obumusaba okubeera mukwano gwe n’akaddamu.

“Awo we twatandikira n’abeera mukwano gwange okuva 2011 kyokka mu 2012 ne musaba omukwano n’akkiriza ne tugenda mu maaso era kati tuteekateeka mbaga.” Julius eyasangiddwa e Ggaba bwe yategeezezza.

Julius okwagalana ne Fiona kyaddiridde Fiona okutabuka ne bba ow’empeta abeera e Bungereza, Omusumba Godfrey Mukasa ow’ekkanisa ya Makindye Christian Center ng’amulumirza obutaba mwesigwa.

Julius abeera Ggaba mu Kampala sso si Bungereza ng’abamu bwe babadde balowooza era eno gye bamuzaala.

Yinginiya ng’akolera mu kkampuni ya Optical Technical Services. Agamba nti, alina emyaka 31 so si 30 nga bwe bazze boogera wabula ekya Fiona okuba n’emyaka 42 si kikulu gy’ali kubanga yamukwana abimanyi ate n’emyaka si kikulu kasita obeera ng’omuntu omwagala.

Julius agamba nti ekyamusikiriza okwagala Fiona kwe kuba nti mukyala wa mpisa ate ng’alina omukwano okukira abakazi abalala era okuva lwe yasisinkana Fiona omutima gwe gwawummula n’afuna emirembe.

Julius Ssekawunde nga bwalabika

Yategeezezza nti, ebigambo by’abantu tebisobola kumwawukanya na Fiona era okuva lwe yamufuna omukwano gwabwe guzze gukula okutuusa kati.

Ezimu ku nnaku zaatajja kwerabira lwelwo lwe yasisinkana Fiona mu ssemadongo wa Afrigo mu 2012 nga Fiona akyaddeko mu Uganda ne basisinkana mu butongole n’ayimba akayimba ka kitaawe aka ‘Viola malayika wange’ akaayongera okumutengula n’okusumulula omukwano.

Ku ky’omusajja Mathew, eyasooka okwagala Fiona nga yaakatabuka ne Mukasa, Julius yagambye nti ebyo bikadde era Fiona yabimugambako tebisobola kwekiika mu nteekateeka zaabwe.

Ku ky’embaga yagambye nti bateekateeka okugattibwa mu April omwaka guno.

blog comments powered by Disqus
NoImage
Olowooza poliisi eneewa alipoota ematiza kukufa kw'omugagga Kasiwuukira ?
Yes
No
Can't Say
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo