
Omubaka omukyala ow’e Bukomansimbi Suzan Namaganda ku lw’omukaaga yayanjudde muganzi we omubaka wa Uganda mu paalamenti etaba amawanga g’obuvanjuba bwa Africa Denis Mukasa Mbidde mu maka ga bakadde be ku kyalo Kisojjo mu ggombolola y’e Kibinge mu Bukomansimbi.