Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Busoga
Busoga Other News
Abaali bamalaaya basomeseddwa
ABAWALA abaali bakola ogw’obwamalaaya mu kabuga k’e Naluwerere okuliraana Bugiri basiimye ekitongole kya Family Force Recovery Foundation (FFRF) ekyabaggya ku nguudo ne kibasomesa emirimu gy’emikono egibayambye okweyimirizaawo.
Okutumbula ebyobulambuzi Museveni akutandise e Jinja
PULEZIDENTI Yoweri Museveni atongozza enkola ey’okutumbula ebyobulambuzi mu kibuga Jinja ne mu ggwanga okutwaliza awamu, okwongera ku muwendo gw’abalambuzi abajja mu ggwanga okulambula.
'Balooya bataputa bubi ensonga z'Obwakyabazinga'
KATUUKIRO wa Busoga, Wilson Mutebe Muwereza alumbye balooya b'ayogeddeko ng'ababuzaabuza Abasoga ku nsonga z’Obwakyabazinga nga bazitaputa ekifuulannenge.
Eyakoma mu P6 aweesezza ennyonyi etambulira ne ku mazzi
OMUVUBUKA Adrian Buyinza, 27, ow'e Jinja akoze ennyonyi gye yagezeserezza ku nnyanja Nalubaale ku mwalo gwa Ripon.
Sipiika bamukutte akubiriza lukiiko
OLUKIIKO lw’eggombolola Buluguyi mu disitulikiti y’e Bugiri lwayiise, sipiika waalwo eyabadde alukubiriza bwe yakwakkuddwa mu ntebe ye n’assibwa ku mpingu mbagirawo nga kigambibwa nti alina ky’amanyi ku bubbi bw’ebyuma by’ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA.
Kadaga mwennyamivu ku mbeera y’ekifo we battira Bp. Hannington
SIPIIKA wa Palamenti, Rebecca Kadaga alaze obwennyamivu olw’embeera embi ekijjukizo ky’Omuzungu Omuminsane eyattirwa e Busoga ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga, Bishop Hannington gye kirimu n’asaba Bannayuganda bayambe okukiddaabiriza.
Abalimira mu kibira ky’e Mayuge baakuwandiikibwa
Abakaayanira ettaka mu kibira ky’e Mayuge okuli ekiwayi ekya Itakalyange n’eky’abalimi batabukidde mu lukiiko olwabadde olw’okubatabaganya ne beerangira n’okuwaanyisiganya ebisongovu mu maaso ga RDC wa disitulikiti y’e Mayuge.
Temunyoo ma maso mero ga mu byalo - Musumba
Ssentebe wa LC5 e Kamuli, Salaamu Musumba akubirizza abatuuze obutanyooma masomero ga mu byalo, wabula bagawagire bukulaakulane kuba gasobola okuvaamu abaana abagasa eggwanga.
Abanonya
ebifaananyi
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
   
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: