Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ffirimbi
Ffirimbi Other News
Inzikuru awedde ku mpagala
EMISINDE egy’okwetooloola ebyalo by'omu disitulikiti y'e Jinja, gyakamudde abaddusi ate eyaliko kafulu waazo, Dorcus Nzikuru katono agikanukiremu.
‘Nkyayagala emidaali’
STEPHEN Kiprotich olwatikkiddwa engule y’obuzannyi bw’omwaka 2012 n’awera nti, “Sinnakkuta midaali. Nnina okulaba nga mpangula buli mpaka ze nneetabamu bakakase nti ogwa Olympics saaguwanguza lukisakisa.”
Cranes erina ttiimu z’ekuba e South Afrika
OBUDDE bukyali okugeraageranya omutindo gw’empaka ezaatandise e South Afrika ku gwa Cranes. Naye sigusuubira kusingawo nnyo ku gwayoleseddwa South Afrika ng’eremagana ne Cape Verde wamu n’ogwa Morocco ne Angola. Mpozzi ku ttiimu entono nga Ivory Coast, Ghana ne Tunisia.
Ebbugumu likyabuze mu mpaka za Afrika?: Ttiimu zivumbeera
BANNAYUGANDA n’abawagizi abalala abava mu mawanga ga CECAFA, empaka za Afrika ezaabwe zitandika leero nga ttiimu ezaabakiikirira, Zambia ne Ethiopia zittunka.
Jas Mangat 'Vvulugu mu mmotoka yali angobedde e Kenya'
BAJJAJJANGE baava Canada kyokka nze nazaalibwa Kigali mu Rwanda mu 1977. Kitange Mangat yazaalibwa Mbarara, n’asenguka ng’akuze n’agenda e Kigali okunoonya ensimbi.
Victoria University evudde ku mulamwa
NGOBEREDDE ennyinnyonnyola ya Victoria University ku nsonga eziyinza okugiggya mu mupiira gwa Uganda ne ndaba ng’ekigendererwa kyabwe ekikulu kya kulabikira ku ntimbe za ttivvi ez’ensi yonna.
Abakulembeze abawemula muve mu mizannyo
NAWUNINKIRIDDE nga ndaba amawulire ku ttivvi ag’abakungu ba Uganda Olympic Committee (UOC)nga bamokkola agagambo.
Ani siponsa wa Police FC?
Ani akulira ekibiina ky’ebyemizannyo ky’abalina obulemu ku mibiri gyabwe mu Uganda era emizannyo gyabwe gibaawo ddi? Yasin 0775423879)
Abanonya
ebifaananyi
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
   
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: