
KASITA nabaana w’omukyala n’ebitundu by’omubiri gwe byonna bibeera nga bikola bulungi, ekya CD4 omukyala z’abeera nazo tekirina we kimulemeseza kufuna lubuto. Owa CD4 eziri waggulu asobola okulufuna ate n’oyo alina CD4 nga ziri wansi era asobola okufuna olubuto.