
ABANTU bangi bekwasa nti ekibalemesa okubaako bizinensi ze bakola butaba na kapito. Abamu balowooloza mu kutandika na bukadde bwa ssente. Waliwo emirimu nga tegyetaaga kapito mungi okugitandika nga eya Ben Soniwa ow’e Banda asiika obundaazi obwakazibwako ‘dadi’.