Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ekisaakaate Ky’abaana
Ekisaakaate Ky’abaana Other News
‘Lwaki abazadde mutulyako keeki?
OMWANA ow'emyaka 7 awuniikirizza abantu abazze ku kabaga ke ak'amazaalibwa bw'asoomoozezza abazadde abeefuga emikolo gy’abaana.
Okunuuna engalo kwandifuula omwana wo omugumba
ABAZADDE abamu bwe balaba ng’abaana baabwe batandise okunuuna engalo, basanyuka nga bawoza nga bwe bawonye abaana okubakaabirira kubanga abaana abanuuna engalo tebatera kukaabakaaba.
Endwadde 11 ezirinze omwana wo gw’osiba enviiri
EMIREMBE gikyuka n’etteeka ly’amasomero erifuga ennyambala y'abayizi, omwali n'ery'okusalako enviiri n'olekako yinsi emu yokka, nalyo likyuse.
‘Bbulooka ze tukuba mu luwummula ze zituweerera’
ABAANA abalala gye bakeerera mu kulaba firimu mu luwum¬mula, bo batabani ba Mw. Muhammad Kabugo e Kibuli mu Mosque Zooni bakeera kukuba bbulooka mwe baggya eza fiizi.
Omuwummuze yiga okukola jaamu mu nyaanya
MU luwummula luno omuzadde ng’oli mu lutalo lw’okunoonya ssente z’olusoma olujja n’ebyetaago ebirala bye banaagenda nabyo ku ssomero, omwana oyinza okumuyigiriza ebintu ebinaayamba okwongera ku nfuna y’amaka. Mu by’oyinza okumuyigiriza mwe muli okukola jaamu asiigibwa ku migaati.
Bajjajja abalera abaana lwaki babettanira?
EMBEEKULO, okukaaba n’okuwoloma bye bikwaniriza mu maka ga Muky. Grace Nakyobe era oyinza okulowooza nti alina akasomero ka nassale. Kyokka bano baba baana b’alera okwefunira ejjamba ababeera baligitira mu luggya lwe.
Omwana wo alinda mmotoka y’essomero alina obukuumi obumala?
OBUDDE bwabadde bukyakutte nga n’enzikiza emwetoolodde kyokka omwana Ali Ebi owa Kid Care ng’ali yekka ku kkubo ku ssaawa 12:00 alinda mmotoka emutwala ku ssomero.
‘Taata anjokezza essanja ng’agamba nzibye’
“NZE Ronald Ssenteza, nnina emyaka 13. Kitange, Mw. Fred Kalibbala Kalinnimi yansibye essanja n’anjokya ng’annanga kubba 300/-.
Abanonya
ebifaananyi
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
   
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: