Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Zirabamuzaale
Zirabamuzaale Other News
Atubidde ne ssenga alemedde ewuwe
TWALEKA Kapere, bba Nalubowa bamuyisizzaako ensambaggere nga bamuyita omwanuzi w’engoye engeri gye yali tamanyiddwa mu kitundu. Ekyamuyamba Nakintu kutuukira mu budde n’ategeeza abaali bamuguddeko nga bw’amumanyi obulungi ne kye yaliko.
Embaga agimaze kati abuukula
ZIBA ziwera 12 ez’okumaliiri g’Olusooka omugagga wa Ziraba n’ayingirawo ku kisaawe e Ntebe ng’ajjidde mu nnyonyi ya Ethiopian Airways.
Abuukira waggulu nga jjanzi, embaga agimaze
ZIRABA nga maneja amaze okukamutema nga bwe yali tannafuna ssimu emulagira kumuwa kakadde ka siringi okuva ewa mukama waabwe e Dubai, yaddayo ng’atongojjedde nga bw’omutunulako akirako omuyiire amazzi!
Faaza amuggye ku muguwa bw'amujunye ku by'embaga
ESSAAWA Ziraba ze yatuukirako e Naluggi ng’atutte ekirango ky’okugattibwa kwe ne Nakintu teyasanga muntu yenna ku kigo kusobola kumuyamba. Ziba ziwera 11:00 ez’akawungeezi ng’omusomesa lw’ajja.
Nakintu agaanyi okugattibwa mu kikungo
ENKEERA ng'amaze okukyajinga ssimu, Ziraba yasiiba mu keetalo era bwe yamaliriza egya bandi n'ayolekera ewa kabiitewe gy'asambira ekyalaani.
Bboosi amukuzizza afuuse maneja
OMUGAGGA bboosi wa Ziraba bino byonna okubaawo teyabimanya kuba era byali tebimukwatako.
Bamukkirizza awase Nakintu enfuuzi
ZIRABA eyali aterebuse oluvannyuma lwa Nakintu okuzirika yaddamu endasi ng’akitegedde nti munne yali ajjanjabiddwa n’assuuka ng’era azzeemu okukkalabya emirimu gye.
Abanonya
ebifaananyi
MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’ . Olowooza Micho anaatuusa Cranes mu nsi ensuub
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
   
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: