Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Ensi egudde eddalu
Ensi egudde eddalu Other News
Abantu bakkiririza batya mu bapaasita ebifeetete!
OMUSUMBA John Obili Munnaghana ab’e Kibuye gye yasooka okubulira enjiri mu 1972 baali bamutegedde bubi.
Abantu batirimbula batya bannaabwe emisana ttuku!
ABA bodaboda beeteereddewo gavumenti n'amateeka agaabwe ku bwabwe ng'omusango w'oguddiza we bakuweera ekibonerezo eky'okuttibwa nga toweereddwa yadde omukisa ogw'okwewozaako.
Abakulembeze beemokkolako batya agagambo ku nguzi!
PULEZIDENTI Museveni yakawang’amudde bwe yalumirizza ababaka ba Palamenti nga nabo bwe bali abali b'enguzi kakuzzi!
Ebikolobero byefunza bitya ensi abantu ne babitunuulira ng'ekintu ekya bulijjo!
ABIKOLOBERO bifuuse ekintu kya bulijjo era tebikyatiisa. Omwana Shamim ow'e Jinja bwe yasaddaakibwa n'attibwa n'asalibwamu olulimi abantu baatya nnyo. Kyokka eby'engeri eno kati bingi tebikyatiisa abantu babimanyidde.
Abazadde bakkakkana batya ku baana baabwe okutugumbula n’emiggo !
BWE kiba nti omuze gw’abazadde okukuba abaana baabwe ne babatta nga gukula bukuzi tulabye kubanga ensi egudde eddalu.
Aba LC bassaawo batya omusolo ogw’ekimpaatira nga poliisi etemya!
KINO kitalo nnyo! Amawulire gagambye nti obwamalaaya bwatongozebwa dda wano mu Kisenyi e Nakivubo.
Abanonya
ebifaananyi
Katikkiro Mayiga yanditandikidde ku ki mu kisanja kye nga Katikkiro?
1. Okubanja Ebyaffe
2. Okuzzaawo amasiro n’okutumbula ebifo eby’obuwangwa
3. Kuteekawo pulojekiti z’ebyenkulakulana mu bavubuka ba Buganda
facebook
Twitter
   
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Developed by: