
OLUVANYUMA lw’olupapula lwa Bukedde okufulumya amawulire agakwata ku kizinga Musambwa abaayo gye asula n’emisota mu ddembe, ate nga kuliko ebika by’ebinyonyi ebisoba mu 50, Gavumenti ya Uganda yatongozza entegeka ya myaka 10 okukulaakulanya ekizinga kino ng'ekifo ky'obulambuzi.