TOP

NATO esudde bbomu ku basajja ba Gaddafi

Added 27th September 2011

Ekitongole ky’amawulire ekya Reuters ne Aljazeera byategeezezza nti oluvannyuma lw’abayeekera okukubwa obubi basajja ba Gaddafi ku Lwomukaaga ne babazza emabega, abayeekera balaajanidde NATO nayo eyasitukuddemu n’etimpula abajaasi ba Gaddafi.

Ekitongole ky’amawulire ekya Reuters ne Aljazeera byategeezezza nti oluvannyuma lw’abayeekera okukubwa obubi basajja ba Gaddafi ku Lwomukaaga ne babazza emabega, abayeekera balaajanidde NATO nayo eyasitukuddemu n’etimpula abajaasi ba Gaddafi.

Eggulo abayeekera aba National Transitional Council (NTC) abaabadde mu ttanka n’ebimotoka ebirwanyi bazzeemu ne bazambalira buto ne bayingira Sirte olwo ne batandika okuwanyisiganya amasasi n’emizinga n’aba Gaddafi.

Ekibuga Sirte eggulo kyasiibye kittunka erikka lya bbomu n’emizinga gya NATO era ennyonyi ennwanyi bakira zirabibwa nga zeetawula mu bwengula bw’ekibuga kino ng’eno emmundu bwe zitokota.

Omwogezi wa NTC, Col. Ahmed Bani yategeezezza nti abalwanyi baabwe baabadde bazzeemu okuzinda Sirte oluvannyuma lwa bbomu za NATO okusanyaawo emizinga n’ebimotoka byabwe.

Abalwanyi bano kati bafubutuse mu buvanjuba sso ng’abaabadde bayingidde Sirte ku Lwomukaaga ne babazza emabega bbo baavudde mu bugwanjuba.

NATO esudde bbomu ku basajja ba Gaddafi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...