Ab’ebyokwerinda mu Gavumenti ya Bufaransa baategeezezza nti Gaddafi ne batabani be: Saif al-Islam, Mutassim, Saad n’abooluganda balabika badduse mu Libya, bandiba nga bali ku lugendo olunaabatuusa mu Burkina Faso.
Minisita wa Burkina Faso ow’ensonga Ezebweru, Yipene Djibril Bassolet yagambye nti beetegefu okuwa  Gaddafi obubudamu era tebayinza kumwefuulira kumuwaayo mu kkooti ya nsi yonna nga Nigeria bwe yakola ku Charles Taylor owa Liberia.
Kyokka omwogezi wa Gaddafi, Mousa Ibrahim yagambye nti kikafuuwe Gaddafi okuva mu nsi ye (Libya) n’alumiriza nti akyali mu Libya era ajja kufiira mu Libya ng’alwanirira okununula ensi ye.
Burkina Faso eyise Gaddafi emubudamye