TOP

Gaddafi waakuvunaanirwa Libya

Added 4th September 2011

Col. Gaddafi yaggulwako emisango gy’okutta abantu n’ebikolobero ebirala  era kkooti y’ensi yonna yamuyisaako ebiwandiiko ‘bakuntumye’ ne mutabani we Saif al Islam.

Wabula omukungu ku kakiiko k’abayeekera, Guma al-Gamaty, yategeezezza nti Gaddafi waakuvunaanibwa mu Libya so si

Col. Gaddafi yaggulwako emisango gy’okutta abantu n’ebikolobero ebirala  era kkooti y’ensi yonna yamuyisaako ebiwandiiko ‘bakuntumye’ ne mutabani we Saif al Islam.

Wabula omukungu ku kakiiko k’abayeekera, Guma al-Gamaty, yategeezezza nti Gaddafi waakuvunaanibwa mu Libya so si mu kkooti ya nsi yonna.

Yagambye nti Gaddafi azzizza emisango mingi okuva mu 1969 lwe yawamba obuyinza era gyonna alina okugivunaanibwa n’agamba nti tebayinza kumuwaayo mu kkooti okuvunaanibwa emisango gyazzizza mu myezi mukaaga gyokka.

Gamaty yagambye nti  kkooti y’ensi yonna eyinza n’okuwa Gaddafi ekibonerezo eky’olusaago songa bbo mu Libya baagala aweebwe ekibonerezo eky’omuzinzi.

Yagambye nti wadde Gaddafi akyabuze, balina essuubi nti bajja kumuzuula ne bwe buliba ddi n’agattako nti bonna abakungu ba Gavumenti abalina ebikolobero bye bazza mu myaka egiyise bajja kuvunaanibwa ng’amateeka ga Libya bwe galagira.

Obutakkaanya mu bayeekera

Obutakkaanya bubaluseewo  mu bayeekera e Benghazi oluvannyuma lw’abakabinja akamu okulumba abakulira akakiiko akafuzi aka  National Transition Council (NTC) nti abakungu baako tewali njawulo na Gaddafi kubanga baabadde mu Gavumenti okumala ebbanga.

Akabinja akayitibwa February 17 Brigade  akagambibwa okubeera aka bannalukalala abaagala Libya okufugibwa ku musingi gw’Obusiraamu.

Akulira akabinja kano, Ismail al Slabi yagambye nti ssentebe wa NTC, Mustafa Abdel Jalil ne banne balina okulekulira  kuba be bamu ne Gaddafi. Yagambye nti n’omugaso gw’akakiiko ka NTC tegukyaliwo okuva Gaddafi lwe yafuumuddwa kati ekyetaagisa kutegeka kulonda.

NTC kaliko abantu 40 okuli abaali basajja ba Gaddafi abaamwabulira  ng’obwegugungo butandise n’abalala abaasangibwa nga bawakanya Gaddafi nga basinziira ebweru wa Libya.

Salabi ayagala bonna balekulira kuba balina akakwate ku Gaddafi. Akabinja kya  Salabi kalimu abalwanyi abasoba mu 3,000 era ke kaasinga okulemesa  amagye ga Gaddafi okuwamba ekibuga Benghazi mu biseera ebyasooka eby’olutalo lw’omu Libya.

Gaddafi waakuvunaanirwa Libya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...