TOP

Ba Nnayuganda boogedde

Added 10th August 2011

Yayongeddeko nti: Embeera y’ebyenfuna embi y’evuddeko akeegugungo okufuuka ak’omutawaana. Abantu bangi omuli ne Bannayuganda baasalwa ku mirimu era baasangiddwa tebakola, kwe kuva mu mbeera ne batuuka n’okuluutinga amaduuka.

Musisi Kiggundu ow’e Lewisham mu London yategeezezza

Yayongeddeko nti: Embeera y’ebyenfuna embi y’evuddeko akeegugungo okufuuka ak’omutawaana. Abantu bangi omuli ne Bannayuganda baasalwa ku mirimu era baasangiddwa tebakola, kwe kuva mu mbeera ne batuuka n’okuluutinga amaduuka.

Musisi Kiggundu ow’e Lewisham mu London yategeezezza Bukedde ku ssimu nti bakitegeddeko nti mu baakwatiddwa mulimu Bannayuganda be baayoledde e Croydon kyokka tebannamanyika muwendo.

Yalaze okutya nti poliisi yanditwaliramu bassaalumanya mu kikwekweto ky’eriko okufuuza abeenyigidde mu kwokya ebizimbe n’okunyagulula amaduuka. Grace Nakate ali mu London yagambye nti amaze ennaku bbiri nga takola ng’akuuma nju ye olw’okutya nti abavubuka bano abaluutinga bayinza okumulumba.

Ate Ken Mulumba abeera e Brixton mu London yagambye nti ekiro tebeebaka nga batya okulumbibwa abavubuka mu kiro. Yannyonnyodde nti amaduuka amanene ng’erya Sony eryayokeddwa liri mu yinsuwa kyokka waliyo obuduuka obutono obumu nga bubadde bukolamu Bannayuganda obutajja kuba bwangu kuzzaawo kubanga tebulina yinsuwa. Kino kitegeeza nti bangi bajja kufiirwa emirimu.

Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya KACITA Issa Ssekitto yagambye nti waliwo Bannayuganda bangi abasuubula e London ng’obwegugungo buno bwabaasanzeeyo era wagenda kussibwawo enkola mwe bagenda okuyita okukakasa nti bayambibwa.

Ba Nnayuganda boogedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...