TOP

Abayeekera bakubye ttanka za Col. Gaddafi 12

Added 9th August 2011

Abayeekera baasoose kwewaana ku Lwomukaaga nga bwe baawambye ekibuga ky’e Bir al-Ghanam kyokka Katikkiro wa Libya, Baghdadi Al-Mahmoudi n’ategeeza bannamawulire mu lukung’aana lwe yatuusizza mu kibuga Tripoli nti ekibuga kiri mu mikono gya Gavumenti.

Wabula abayeekera baatutte banna

Abayeekera baasoose kwewaana ku Lwomukaaga nga bwe baawambye ekibuga ky’e Bir al-Ghanam kyokka Katikkiro wa Libya, Baghdadi Al-Mahmoudi n’ategeeza bannamawulire mu lukung’aana lwe yatuusizza mu kibuga Tripoli nti ekibuga kiri mu mikono gya Gavumenti.

Wabula abayeekera baatutte bannamawulire b’ebitongole omuli ekya Reuters ne BBC mu Bir al-Ghanam ne babalaga ttanka ezaakubiddwa n’abajaasi ba Gaddafi abaawambiddwa.
Munnamawulire wa Reuters, Michael Georgy yawandiise ng’asinziira mu Bir al-Ghanam nti okuggyako okulaba densite z’abajaasi ba Gaddafi n’emirambo egyaziikiddwa eggulo tewali kabonero konna k’abajaasi ba Gavumenti.

Abayeekera beewaanye nti Bir al-Ghanam kyokka kye kibadde kibalemesezza okwolekera Tripoli era nti kati bagenda kusonga nga basookera ku kabuga k’e Zawiyah. Bw’ogeraageranya wano Bir al-Ghanam kiri nga kuva Jinja kutuuka Kampala.

Kyategeezeddwa nti mu bayeekera abataano abattiddwa mu lutalo kasiggu olw’okweddiza Bir al-Ghanam mwabadde omusajja Omulibya eyaakadda okuva mu Amerika ne mutabani we.

Ebibuga nga Zlitan, Brega ne Misrata bimaze akaseera ng’abayeekera babiwamba ate oluvannyuma aba Gaddafi ne babyeddiza.

BATADDEWO EGGYE LY’AMAFUTA
Abayeekera bagambye nti bassizzaawo eggye ery’enjawulo okukuuma ebirombe by’amafuta mu bifo bye bawamba. Kino kiddiridde amagye ga Gaddafi okukuba emidumu gy’amafuta egyali gidda ku myalo mu Liyanja Mediterranean gye baali baagala okugayisa okugatunda.

Omwogezi w’abayeekera ku kitebe kyabwe mu kibuga Benghazi yagambye nti eggye lino baliwadde emmotoka n’ebyokulwanyisa eby’omulembe omuli galubindi eziraba ekiro.

Yannyonnyodde nti kino kijja kuyamba okukomya amagye ga Gaddafi okukuba amalongoosezo g’amafuta gaabwe wamu n’okusindika abatujju okugategako bbomu

NATO EKUBYE
Ku Ssande ennyonyi za Bungereza ez’ekika kya Apache zaabuse okuva ku mmeeri eyitibwa HMS Ocean mu Mediterranean ne zikuba emizinga egy’ekika kya Hellfire ku bimotoka by’amagye gaGaddafi mu kibuga ky’e Al-Watyah, ekisangibwa kiromita 170 okuva e Tripoli. Omwogezi wa NATO, Major General Nick Pope yagambye nti bakyakakasa bintu ki ddala bye basaanyizzaawo nga bakozesa ennyonyi zaabwe ennawunyi eziri mu bwengula.

ABAYEEKERA BAKUBYE OMUDUMU GW’AMAFUTA

Ebbula ly’amafuta n’amasannyalaze byeyongedde mu kibuga Tripoli oluvannyuma lw’ogumu ku midumu gy’amafuta okuva e Zlantan okukubwa emizinga gy’abayeekera.
Katikkiro Al-Mahmoudi yategeezezza nti gavumenti ekola buli ekisuboka okuzza mbeera mu nteeko.

Al-Mahmoudi era yalumbye n’amawanga ag’omukago gwa NATO nti bafubye okusaanyawo ebyobugagga bya Libya kyokka nga ne Gaddafi tebagenda kumuggyako.

Yagambye nti Abazungu baggyeeyo buli kyakulwanyisa kyokka olutalo lugaanyi n’agamba nti mpozzi nga baleese byakulwanyisa ebya nukiriya nga bwe baakola e Japan mu 1945.

Abayeekera bakubye ttanka za Col. Gaddafi 12

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...