TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Abasuubuzi bafiiriddwa bya bukadde mu muliro okwokezza akatale ka Owino

Abasuubuzi bafiiriddwa bya bukadde mu muliro okwokezza akatale ka Owino

Added 1st August 2011

ABAAGALA ETTAKA LY’AKATALE KA PAAKA YAADI
Abasuubuzi bagamba nti ebbanga lyonna bazze bakoonagana n’abagagga abazze bagezaako okukolagana ne KCC n’abakungu ba Gavumenti okutwala  ettaka lino.

Ssentebe wa Kizito Zooni mu Paaka yaadi, Patrick Kyeyune eggulo yakunze ab

ABAAGALA ETTAKA LY’AKATALE KA PAAKA YAADI
Abasuubuzi bagamba nti ebbanga lyonna bazze bakoonagana n’abagagga abazze bagezaako okukolagana ne KCC n’abakungu ba Gavumenti okutwala  ettaka lino.

Ssentebe wa Kizito Zooni mu Paaka yaadi, Patrick Kyeyune eggulo yakunze abasuubuzi  okusula mu katale kano n’abalabula nti bwe bataakikole, we banaakomerawo enkya bayinza okusangawo ebibaati kuba abaakookezza ekifo bakyagala.

ABAAGULA OMWALA GW’E NAKIVUBO
Abasuubuzi bagamba nti mu April w’omwaka guno, olukiiko lwa KCC olwali lukulirwa eyali Meeya Nasser Sebaggala lwasalawo okutunda omwala gw’e Nakivubo eri abagagga baguzimbeko akeedi. Wabula abasuubuzi bagamba nti abagagga tebasobola kuzimbako ng’akatale kaabwe kakyaliwo.

Omusuubuzi Abdul Majidu agamba nti abagagga abalala abaatwala ezimu ku poloti ezaasalibwa mu kisaawe ky’e Nakivubo abaagala okuzimbawo paaka ya bbaasi, nabo baleese obuzibu nga baagala abasuubuzi baveewo mangu bakole ebyabwe.

Kyokka Hamza Kalema ssentebe w’abasuubuzi ba Park Yard yaweze nti abaggaga ne bwe bakola ki abasuubuzi tebajja kuvaawo.

ABAAGALA OKUGULA EKISAAWE KY’E NAKIVUBO
Abasuubuzi era balumiriza nti waliwo abagagga abalala abaagala okugula ekisaawe kya Nakivubo bazimbewo ebizimbe olwo ebadde Park Yard bagikozesenga paakingi.
Mu February 2009 amawulire gaafuluma nti kkampuni ya bbaasi eya Allied Owners Bus Association, baali bafunye ekitundu ku kisaawe ky’e Nakivubo okussaamu paaka kyokka baabalemesa okusenda ekitundu ekigambibwa nti baali bakiguze.

EKKOBAANE MU BAKUUMI
Omusuubuzi Ali Ssewankambo yeebuuza ekigendererwa ky’abakulira akatale ka Park Yard, okubagobanga ku ssaawa emu ey’akawungeezi n’amasannyalaze ne bagaggyako nti obukuumi obw’amaanyi butandike.

Kwe kwebuuza nti olwo ate abaabookeredde baavudde wa?
Alowooza nti abakuumi b’akatale kano bandibuuziddwa nnyo ku ngeri akatale kano gye kaayidde ng’ate bulijjo babaddenga babagamba nga bwe bakakuuma.
Ayongerako nti Poliisi erina akayumba ku katale kano kennyini kyokka nayo teyasobodde kutaasa mbeera eno.

OBUKADDE 1000 GAVUMENTI  ZE YABAWA
Kansala Salim Uhuru alowooza nti ng’oggyeeko eky’okutemaatema poloti mu kitundu kino ekiyinza okuba nga kye kivaako enkaayana yaazo abamu ne basalawo okwokya emmaali ya bannaabwe, waliwo enkaayana z’engabana ya ssente obukadde 1,000 ezaaweebwayo Gavumenti ng’akatale kano kayidde mu 2009.

Agamba nti abasuubuzi bwe baakaayana, abakulembeze baazibagyamu ne bakolawo SACCO ezigaba kyokka nga nayo, abasuubuzi bakaayana nti ezigabira bantu baabwe.

Wabula omwogezi wa Poliisi, Judith Nabakooba yagambye nti bataddewo akakiiko akenjawulo, akakulirwa Mw. Paul Kato kanoonyereze ekyavuddeko omuliro okwokya akatale ka Park Yard.
Yavumiridde abaakoze effujjo ne boonoona empiira z’ebimotoka ebifuuwa amazzi okuzikiza omuliro n’okukuba mmotoka UP2350 eyavudde e Jinja okujja okudduukirira.
Yagambye nti baafunye lipooti y’omuliro ku 8:21 ez’ekiro ne batuuka ku 8:24.

Abasuubuzi bafiiriddwa bya bukadde mu muliro okwokezza akatale ka Owino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....