TOP

Akasiki ka Bobi Wine kaakubeera ku lyato

Added 21st July 2011

Pulezidenti wa Ghetto, Bobi Wine ne kabiite we Barbie Itungo basazeewo basooke balye obulamu ne mikwano gyabwe ku kasiki ke babategekedde ku lyato.

Kano ke kamu ku bungodera basereebu bano bwe basazeewo okuteeka ku mbaga yaabwe ey’obukadde 300, okusinziira ku bajeti gye twafunyeko kko

Pulezidenti wa Ghetto, Bobi Wine ne kabiite we Barbie Itungo basazeewo basooke balye obulamu ne mikwano gyabwe ku kasiki ke babategekedde ku lyato.

Kano ke kamu ku bungodera basereebu bano bwe basazeewo okuteeka ku mbaga yaabwe ey’obukadde 300, okusinziira ku bajeti gye twafunyeko kkopi.

Embaga yaakubaawo nga August 27, 2011 mu Lutikko e Lubaga n’oluvannyuma basembeze abagenyi baabwe ku Serena Hotel.

Ng’oggyeeko akasiki kano ak’okukolerwa ku nnyanja, waliwo obubaga obulala buna (4) obutegekeddwa. Bwonna bwakubeera mu wiiki ekulembera embaga.

Akasiki ak’oku lyato erinaasimbuka ku bbiici ye e Busaabala, balye obulamu nga bwe beetooloola ennyanja Nalubaale, kaakubaawo nga August 24. Kano kaakwetabwako abagenyi 100.

Bobi Wine eyabadde mu lukiiko lw’embaga ye ku bbaala ya Alfredo e Bukoto ku Lwokusatu, yategeezezza nti ng’akasiki kano kawedde, enkeera wajja kubaawo akalala e Kamwokya nga kano ka mikwano gye bwe bakuze mu Ghetto. Ka bukadde 10.

Akasiki akookusatu kali mu Guvnor nga August 25. Ekifo kyakusasulwa 2,500,000/- ate ebyokulya yabaliridde bya bukadde 20.

Bobi Wine anaaba abinuka mu Gurvnor, ng’ate Barbie ali mu Club Le beanjola. Agavaayo gagamba nti kino ekifo baafunye kya bwereere wabula ebyokulya n’okunywa bya bukadde 15. 
Akasiki akasembayo kakubeera mu Nyondo Pub e Najjanankumbi.

Hanemuunu

Ng’embaga ewedde, bategese okuwummula mu bifo bibiri ebyenjawulo. Hanemuunu esooka baakulinnya ebbaati bagende mu Amsterdam ekya Holland. Bajeti y’eno ya bukadde 50.
Bwe banadda, bajja kweyongeza hanemuunu e Busaabala ku bbiici ye.

EBIRALA
Omutimbi waakumalawo   15,000,000/-.
Embalaasi n’ebigaali kwe bagenda okutambulira bya bukadde 12.
We twagendedde mu kyapa, nga mikwano gya Bobi Wine ne Barbie gyakasonda obukadde 180.

Alina ky’oyogera ku mbaga eno, wandiika bobiwine lekawo akabanga ozzeeko obubaka bwo oweereze ku 8338. teweerabira erinnya lyo.

Akasiki ka Bobi Wine kaakubeera ku lyato

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Kalemba ng’ayogera eri abantu b’e Kyakatuuma.  Emabega ly’eddwaaliro ly’abadde azimba.

Mponye ababadde bakeera ewa...

OMUBAKA w'e Kakuuto mu Palamenti, Christopher Kalemba agambye nti teyejjusa kuwangulwa kyokka n'agamba nti akitegedde...

Sam Ssimbwa (ku kkono) ne Sadat Anaku nga bakutte engule ezibaweereddwa.

Ssimbwa ne Anaku bawangudde...

OMUTENDESI wa URA Sam Ssimbwa ne Sadat Anaku omuteebi wa KCCA balidde engule z'omwezi gwa March eza ‘Pilsner Awards'...

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...