TOP

UTODA n’aba takisi bayimirizza akeediimo

Added 11th July 2011

“Ssente zonna ezitaliiko liisiti aba UTODA ze babadde basolooza ku ba takisi ziyimiriziddwa okumala wiiki ssatu nga gavumenti bw’ezinoonyerezaako”, James Mututa  avunaanyizibwa ku by’amawulire mu ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti bwe yategeezezza.

Bino byakkaanyiziddwaako mu kafubo

“Ssente zonna ezitaliiko liisiti aba UTODA ze babadde basolooza ku ba takisi ziyimiriziddwa okumala wiiki ssatu nga gavumenti bw’ezinoonyerezaako”, James Mututa  avunaanyizibwa ku by’amawulire mu ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti bwe yategeezezza.

Bino byakkaanyiziddwaako mu kafubo omumyuka wa Pulezidenti  Edward Kiwanuka Ssekandi ke yeevumbye n’abakulembeze ba UTODA abaakuliddwa Haji Moses Katongole n’abakulembeze b’ekibiina kya Drivers and Conductors Association (DACA)  abaakuliddwa Mustafa Mayambala.

Aba DACA be baakulidde okwediima kw’aba takisi eggulo ku Mmande  nga bawakanya UTODA okubasoloozaako ssente ez’okutikka takisi ze bagamba nti zimenya amateeka kubanga teziriiko lisiiti

Buli takisi etikka ku buli siteegi, esasula ssente ezigya mu bantu basatu nga zino aba UTODA bayita za ‘welfare’ kyokka ba dereeva baziwakanya nti teziriiko lisiiti era teziri mu mateeka.

Ssente endala aba DACA ze bawakanya ze zisoloozebwa  aba UTODA ku siteegi ku nguudo  buli aba takisi lwe balonda abantu era nazo ziyimiriziddwa.

Mu kafubo ka Ssekandi n’aba takisi akaatudde ku ofiisi za Pulezidenti ku kizimbe kya Palamenti, aba UTODA baalagiddwa okusigala nga basolooza ssente eza 20,000/- eza sitiika eza buli mwezi   n’eza lisiiti eza buli lunaku 4,500/-.

Ensonda mu kafubo kano akaatandise zigamba nti  aba DACA baaloopye aba UTODA ewa Ssekandi nti  ng’oggyeeko okusolooza ssente ezimenya amateeka, batulugunya badereeva abagezaako okubuuza amayitire ga ssente ezo era nti balina ekibinja ky’abavubuka bakamyama abakuba n’okubonyaabonya baddereeva.

Wabula Haji Katongole yannyonnyodde Ssekandi nti ssente za ‘welfare’ zikola ku mbeera za badereeva ne ba kondakita ba takisi era nti ssente ezo be baazissaawo okukola ku bizibu byabwe engeri gye batasasulwa misaala.

UTODA n’aba takisi bayimirizza akeediimo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...