TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Ab’ewa Kisekka Beegaanyi okulumba aba Owino

Ab’ewa Kisekka Beegaanyi okulumba aba Owino

Added 8th July 2011

Omwogezi w’abasuubuzi mu Katale k’ewa Kisekka Simon Peter Lubwama yagambye nti ensonga eno basoose kugiwulira ng’eva mu babyakwerinda ne babuuza atwala poliisi ya Owino Patrick Mugasa n’abategeeza nti abantu baagugumuse lwa musajja gwe baabadde bateebereza okubeera omubbi naye nga bamukutte

Omwogezi w’abasuubuzi mu Katale k’ewa Kisekka Simon Peter Lubwama yagambye nti ensonga eno basoose kugiwulira ng’eva mu babyakwerinda ne babuuza atwala poliisi ya Owino Patrick Mugasa n’abategeeza nti abantu baagugumuse lwa musajja gwe baabadde bateebereza okubeera omubbi naye nga bamukutte era embeera n’ekkakkana.

“Nkakasa tewali muntu we wa Kisekka yagenze mu Owino kubanga n’ewaffe waabaddeyo abantu abatonotono abaabadde bakola naye tewali yabakutteko” Lubwama bwe yakkaatirizza.

Joseph Magala atwala ebyokwerinda mu katale kano yayongeddeko nti babadde mu lukiiko ewa RCC Nalongo Rose Kirabira gye baasisinkanidde abakulembeze ba Owino ne babategeeza ensonga eno ng’erabika ng’entono naye baagenze okulaba nga buli mukutu gw’amawulire gukiyimba.

Ye sentebe wa Owino Godfrey Kayongo Nkajja yategeezezza nti waliwo omusajja eyazze mu katale kaabwe ng’adduka okuva mu paaka nga kigambibwa nti yabadde mubbi kyokka abantu bwe baamuzingizza okumukuba n’atandika okuleekaana nti ab’ewa Kisekka batulumbye olugambo we lwavudde okusasaana.

Ab’ewa Kisekka Beegaanyi okulumba aba Owino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...