TOP

Bazudde ebintu Seya by’alese atunze

Added 1st July 2011

Mu bye baakoze mulimu okuwa kkampuni ya M/s Nalongo Estates Ltd, yiika musanvu n’ekitundu ez’ekibangirizi kya Centenary Park. Baamuwadde liizi ya myaka 49.
Sebaggala yatuuzizza olukiiko nga April 28, 2011, olwawadde kkampuni eyo ekibangirizi. Nalongo Estates ya Muky. Sarah Kizito, muka Mee

Mu bye baakoze mulimu okuwa kkampuni ya M/s Nalongo Estates Ltd, yiika musanvu n’ekitundu ez’ekibangirizi kya Centenary Park. Baamuwadde liizi ya myaka 49.
Sebaggala yatuuzizza olukiiko nga April 28, 2011, olwawadde kkampuni eyo ekibangirizi. Nalongo Estates ya Muky. Sarah Kizito, muka Meeya wa Kampala central Godfrey Amooti Nyakana.

Kkampuni endala eya JIMA Properties yagula ekisaawe ky’essomero lya Buganda Road mu bukyamu, kyokka Sebaggala yalese agiwadde yiika 60 eza KCC mu Kikajjo. Bino baabikola April 21,2011.

Ku lunaku lwe lumu, kkampuni ya Mariana Agencies ne KItandwe Enterprise (ey’omugagga w’omu Kampala Kitandwe) baagiwadde liizi ya myaka 49, okuzimba ku mwala gw’e Nakivubo okuva ku Kyaggwe Road ewa Kisekka okutuuka ku Container Village. Wano baapimawo poloti mukaaga. Ku mwala bagenda kuzimbako ebizimbe waggulu, gwo guyite wansi.Poloti kuliko 1-21 Allen Road; 40-48 Nakivubo Place, 22-38 Nakivubo Place.

Kyokka Bukedde yazudde ng’omwala gwatundibwa Sebaana Kizito mu 2005, wabula diiru n’erema okussa mu nkola. Sebaggala ye yagimalirizza. Okwo baagasseeko okutunda eddwaaliro lya KCC ku Nkurumar Road lye baaguzizza kkampuni ya Securex Amenities. Poliisi yagguddewo omusango ku Sebaggala n’olukiiko lwe.

Ddiiru endala Sebaggala n’olukiiko lwe ze baakoze mulimu okutunda ku ddwaaliro lya KCC e Bukoto; okutunda eggwanika lya KCC e Mulago; kontulakiti z’okukung’aanya obusuulu bw’amayumba; emivuyo mu kugaba ttenda z’okusimba emmotoka mu Kampala; okugabira abagagga paaka ya takisi enkadde n’okwongezaayo liizi ya UTODA nga tebagoberedde mateeka.

Sebaggala tetwasobodde kumufuna eggulo, kyokka omwogezi we Dan Matovu yagambye nti Sebaggala bino teyabikola ku lulwe ng’omuntu wabula byakolebwa lukiiko lwa KCC olwatuuzibwa mu mateeka.

N’agamba nti Muky. Musisi ne Erias Lukwago balina okusooka okulaga nti olukiiko lwatuula mu bukyamu oba si ekyo balina okussa mu nkola buli ekyasalibwawo.
Muky. Musisi yawandiikidde ababaka ku lukiiko lwa KCC ebbaluwa nga June 13, mwe yatadde ebintu 18, bye yakazuula nga Sebaggala n’olukiiko lwe baabikolamu emivuyo.

N’agamba nti yasabye dda poliisi okutandika okunoonyereza ku byonna okulaba nga we kisoboka wagololwa. Erias Lukwago yagambye nti okutundu kwa Centenary Park, gye gimu ku mivuyo Sebaggala gye yeenyigiddemu n’agamba nti agenda kukola ky’asobola okukinunula.

Wabula Muky. Sarah Kizito, akulira Nnalongo Estates yategeezezza nti ekifo ekyo be bakiddukanya era liizi yaabwe ebuzaayo emyaka ena n’ekitundu okuggwako n’agamba nti kye baakoze kwe kusaba okwongezaayo Liizi basobole okusigala nga balabirira ekifo kino mu mbeera gye kirimu.

Yagambye nti tebagenda kukizimbako wabula bagenda kukikuuma nga kyakiragala era nga kyakuwummulirwamu. N’olwekyo bye bakola biri mu mateeka.

Ebimu ku bivunaanwa Seya

1. Ettaka ly’akatale k’e Nateete
2. Eddwaaliro lya KCC ku Nkrumah
3. Eggwanika lya KCC e Mulago
4. Eddwaliro lya KCC ery’e Bukoto
5. Ettaka lya KCC ery’e Kyanja
EMIVUYO EMIRALA
1. Okukungaanya emisolo gy’ebizimbe
2.Okukungaanya emisolo gya woteeri
3. Okutunda mmotoka za KCC
4. Okukung’aanya ensimbi ezisoloozebwa ku kuyisa pulaani z’ebizimbe
5. Okukozesa obubi mmotoka za KCC
6. Okubulankanya amafuta ageeyambisibwa mmotoka ezikung’aanya kasasiro
7. Ensimbi eziva mu bipande ebissibwa ku nguudo
8. Ebyuma bya minzaani ezipima obuzito bwa mmotoka ebyatundibwa
9. Sente ezaali ez’okusasula abatuuze abaali bannanyi ttaka awayiibwa ebisaniiko e Kiteezi
10. Obutale: enzirukanya yaabwo, n’ensimbi ezibuvaamu.

Bazudde ebintu Seya by’alese atunze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...