TOP

Gaddafi atendese eggye lya bakomado abakazi 500

Added 28th June 2011

Wabula abawagizi ba Gaddafi mu kibuga Tripoli   ebya kkooti y’ensi yonna, ICC okuyisaawo ekiragiro  ‘kibakuntumye’ ku mukulembeze waabwe babiyise katemba w’Abazungu era balabudde nti tewali muntu yenna ajja kumukwatako okuggyako mpozzi ng’asoose kubatta n’abamalawo kye baagambye n

Wabula abawagizi ba Gaddafi mu kibuga Tripoli   ebya kkooti y’ensi yonna, ICC okuyisaawo ekiragiro  ‘kibakuntumye’ ku mukulembeze waabwe babiyise katemba w’Abazungu era balabudde nti tewali muntu yenna ajja kumukwatako okuggyako mpozzi ng’asoose kubatta n’abamalawo kye baagambye nti nakyo tekisoboka.

“Aba NATO bali mu kwekaza olwa bannansi ba Libya abangi be battidde mu bbomu era kati banoonya kyakwesa okutemula Gaddafi,” Mousa Ibrahim omwogezi wa gavumenti ya Libya bwe yagambye.

Mu kulaga amaanyi abawagizi ba Gaddafi baayisizza ebivvulu mu kibuga Tripoli oluvannyuma lw’omukolo  gw’okutikkira bakomando  abakazi ab’omutawaana 500 abaatendekeddwa mu ngeri ey’enjawulo okukuuma Gaddafi. Bano beegasse ku balala 10,000 abaaweereddwa emmundu wiiki ewedde.

Abawala abaatendekebbwa bali wakati w’emyaka 14 ne 30  nga baatendekeddwa  mu bukodyo obw’okukuuma omukulembeze w’eggwanga, okusaanyaawo omulabe, okuwamba ennyonyi oba emmeeri n’okwetulisizaako bbomu bwe kiba kyetaagisizza.

Mu kuyisa ebivvulu abawagizi ba Gaddafi abaabadde bakutte ebifaananyi bye baaweze nti, “ okukwata ku Gaddafi mulina kusooka kutta bannansi ba Libya bonna,” bwe baagambye.

Omu ku bawala bano Fatima Hassan yagambye nti mwetegefu okwetulisizzaako bbomu singa omuntu yenna agezaako okukwata ku mukulembeze waffe.

Gavumenti ya Libya yakkiriza bannamawulire okuva mu mawanga agebweru okwetaba ku mukolo era baakubye ebifaananyi ng’abawala bano bakwasibwa eby’okulwanyisa ebya buli kika.

Ibrahim yagambye nti abakazi beewaddewo bokka okufiiririra omukulembeze waabwe n’agattako abavubuka abalala nabo bali mu kutendekebwa okulwanyisa NATO n’abayeekera.
 
Gaddafi tugenda kumukwata-ICC
Omuwaabi w’emisango mu ICC, Louis  Moreno-Ocampo  yagambye nti Gaddafi agenda kukwatibwa mu myezi ng’ebiri oba esatu asimbibwe mu kkooti y’ensi yonna e Hague mu Netherlands

Yagambye nti essuubi balirina mu  magye ga NATO  okwongera okunafuya Gaddafi mu myezi ebiri egijja, n’abayeekera bongeramu amaanyi bawembe ekibuga Tripoli olwo Gaddafi bamukwate nga talina w’addukira.

Ocampo yagambye nti  obutafaananako nga Pulezidenti wa Sudan, Gen Omar al Bashir,  Gaddafi mwangu wakukwatibwa engeri ekibiina ky’amawanga amagatte gye kyayisa ekiteeso okumukugira okubuusa ennyonyi.

Abayeekera ssente zibaweddeko:
Yo embeera mu kibuga Benghazi yeeraliikiriza  oluvannyuma lw’abayeekera ssente okubaggwaako nga kati amawaliro tegaliimu ddagala n’ebikozesebwa ebirala.

Dr. Nagi Barakat  yategeezezza aba  BBC nti amawanga agebweru gateekwa okusitukiramu okuweereza obuyambi ng’embeera tennasajjuka.

Emmundu ziseka:
Emmundu ziseka  mu kibuga ky’e Bir al- ekiri kilomita 80 (mayiro 50) okuva e Tripoli ng’abayeekera bagezaako okukiwamba okuva ku magye ga Gaddafi. 

Abayeekera bano abasemberedde Tripoli bava mu bugwanjuba bwa Tripoli sso ng’ebitundu ebisinga obungi  ebiri mu mikono gy’abayeekera ng’ebibuga bya Benghazi ne Misrata.

Gaddafi atendese eggye lya bakomado abakazi 500

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita naye ayogedde ku mu...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...