TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Omusika wa bin Laden akunze Abasiraamu balumbe Amerika

Omusika wa bin Laden akunze Abasiraamu balumbe Amerika

Added 10th June 2011

Ayman al-Zawahri eyayogeredde ku katambi okumala eddakiika 28 yagambye nti okuttibwa kwa mukama waawe Bin Laden nga May 2 Abasiraamu mu nsi yonna balina okukwesasuza kubanga yali muzira waabwe. “Kati kyamukisa mulungi nti Amerika tekyalwanyisa muntu omu yekka oba akabinja wabula Busiraamu bwonna,â

Ayman al-Zawahri eyayogeredde ku katambi okumala eddakiika 28 yagambye nti okuttibwa kwa mukama waawe Bin Laden nga May 2 Abasiraamu mu nsi yonna balina okukwesasuza kubanga yali muzira waabwe. “Kati kyamukisa mulungi nti Amerika tekyalwanyisa muntu omu yekka oba akabinja wabula Busiraamu bwonna,” Zawahiri eyabadde mu muvuluya omweru ng’alina n’emmundu eya AK 47 okumpi ne w’atudde era nga Bin Laden bwe yakolanga bwe yagambye.

Zawahiri yawaanye Bin Laden okufa nga muzira nga teyeewaddeyo mu mikono gy’Abakaafiiri.  Bin Laden yattibwa bakomando ba Amerika abekibinja eky’omutawaana ekya Navy SEALS bwe baalumba ennyumba mwe yali asula mu kibuga ky’e Abbottabad mu Pakistan. Omulambo gwe oluvannyuma gwasuulwa mu nnyanja ya Arabian Sea.

“Sheikh (bin Laden) yagenda butereevu mu jjana ng’omuzira. Omusajja eyakankanya Abamerika nga mulamu naye ne bamutya n’amalaalo ge ne basalawo omulambo gwe kugusuula mu nnyanja,” Zawahiri bwe yagambye.

Zawahiri yawaanye n’abaawamba gavumenti za Misiri ne Tunisia wamu n’abo abalwanyisa Gaddafi mu Libya n’abayita batukuvu abaagala okuggyawo obufuzi obutali ku musingi gwa Busiraamu era obukolagana n’Abamerika.

Omusika wa bin Laden akunze Abasiraamu balumbe Amerika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...