TOP

Abakakasa Baminisita beeweredde Sebaggala

Added 29th May 2011

Abamu ku baalondeddwa be beeweredde okuwa akaseera akazibu y’eyali Meeya wa Kampala, Nasser Sebaggala eyaweereddwa obwaminisita etalina mirimu gya nkalakkalira.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano abataayagadde mannya gaabwe kwatulwa baagambye nti balindiridde okulaba ebiwandiiko  Sebaggala byâ

Abamu ku baalondeddwa be beeweredde okuwa akaseera akazibu y’eyali Meeya wa Kampala, Nasser Sebaggala eyaweereddwa obwaminisita etalina mirimu gya nkalakkalira.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano abataayagadde mannya gaabwe kwatulwa baagambye nti balindiridde okulaba ebiwandiiko  Sebaggala by’agenda okutwala mu Palamenti ng’abamu balumiriza nti ng’oggyeeko empapula, Ssebaggala yasingisibwako n’emisango egyekuusa ku bubbi n’olwekyo tasaana kubeera Minisita.
Kyokka  Ssebaggala yategeezezza nti talina kubuusabuusa kwonna, ajja kuyitawo kubanga okubeera Meeya wa Kampala, ebiwandiiko bye byalina okusooka okukakasibwa.
“Okumanya  ndi mwetegefu, sirina kye ng’enda kuwandiika, nga  ng’enda mu kakiiko, omutwe gwange  gwokka gugenda kunneeyimirira,  kubanga buli kintu kyonna kiri omwo omuli n’obuyigirize bwange.”

Yagasseeko nti akitegeddeko nti buli Minisita akakiko kagenda kumuwa eddakiika ttaano n’olwekyo ne yeebuuza nti ababaka abo abamwerera banaggyawa obudde okubuuza  kino na kiri.

“Akakiiko nja kukayitako, ekyo ssikirinaamu buzibu kubanga n’abakatuulako tumanyiganye bulungi, kubanga  be bantu be mbadde nkola nabo  naddala mu kampeyini era bammanyi nti nnina obusobozi ne vizoni”, Sebaggala bwe yagambye

Yagambye nti enkizo gy’alina, abantu abasinga ku kakiiko ba NRM era naye (Ssebagala) wa NRM nti ate bataano bokka ab’oludda oluvuganya  alinako abantu babiri, be yeesiga nti tebajja kumwekiikamu kubanga baamukubidde dda n’amasimu agamuyozaayoza.

Ku  by’okusibwako mu kkomera, Sebaggala yagambye nti, “abo ababaka  si balamuzi eby’okusibwa kwange tebibakwatako kubanga byaggwa dda, kansuubire nti ssentebe w’akakiiko ajja kuwabula ababaka singa banaaba bava ku mulamwa okuyingirira ebitabakwatako.”

Ku mivuyo gy’omu KCC, Ssebaggala yagambye nti si y’abadde akulira eby’ensimbi mu KCC, ye abadde wa byabufuzi n’olwekyo ebyensimbi za KCC balina kubibuuza Town Clerk so ssi ye.

Ng’oggyeeko Sebaggala, abantu abalala abasuubirwa okusanga obuzibu mulimu ababadde baminisita abagambibwa nt amannya gaabwe gaanokolwayo mu lipoota y’omubazi w’ebitabo bya Gavumenti nti baakwata bubi ssente za CHOGM nga mu bano kuliko Sam Kutesa, ne  Dr. Khiddu Makubuya.

Abalala kuliko  abalina emisango mu kkooti egikwata mu by’okulonda n’obuyigirize.
Pulezidenti Museveni yalonze baminisita abapya 75, okuli abajjuvu  29 n’ababeezi 46 mu nkyukakyuka ze yalangiridde ku Lwokutaano nga May 27.  

Baminisita abapya  tebayinza kuyingira ofiisi okuggyako nga basoose okukakasibwa Palamenti nga Konsitityusoni bw’eragira mu katundu 113.

 Abaalondeddwa  bonna omuli n’ababadde baminisita bateekwa  okuddamu okuyita mu kakunguta ka Palamenti nga kano ke kakiiko ak’ababaka 20  abalina obuyinza obulemesa omuntu okulya obwaminisita kasita wa Pulezidenti obujulizi obulimu eggumba ku muntu oyo nti  tasaanidde.

Akakiiko kano akakakasa baminisita kayitiddwa okutandika okutuula enkya ku Lwokubiri ku kizimbe kya Palamenti.  Sipiika wa Palamenti y’akulira akakiiko kano akatuulako n’omumyuka wa Sipiika, akulira oludda oluvuganya n’ababaka 20.

NRM y’esinga ababaka abangi ku kakiiko kano nga bali 15;  Kasamba Mathias, Rose Najjemba, Nakabale Patrick, Safia Nalule, Milton Muwuma, Saleh Kamba, Christine Aporu, Peter Aleper, Hood katuramu, Fred Omach, Rebecca Otengo, Elly Tumwiine, Victoria Rusoke, Kasiriivu Atwooki, ne Paula Turyahikayo.

Nandala Mafabi akulira oludda oluvuganya y’akiikirira FDC, Betty Amongi wa UPC, Ssebuliba Mutumba wa DP,  n’abatalina kibiina  bakiikirirwa Mathias Mpuuga ne  Rosemary Nyakikongoro.
Wabula bammemba bana  aba NRM okuli Kamba, Omach, Aporu ne Otengo nga be bamu ku baminista abapya, ebifo byabwe aba NRM baatudde eggulo okubujjuza.

Omwogezi wa Palamenti, Muky. Hellen Kawesa yategeezezza eggulo nti Palamenti ekoze Pulogulaamu eneegobererwa mu kwekenneenya baminisita bonna 75. Yagambye bateese buli muntu okumumalako eddaakika ezitasukka 15 basobole okukola ku bantu  waakiri  bataano buli  ssaawa emu.

 


 

Abakakasa Baminisita beeweredde Sebaggala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukyala ng’akuuta bbebi ebinnyo.

Kozesa kigerekyampisi okuvu...

EBINNYO bwe bulwadde obukwata abaana abali wakati wa wiiki emu n’emyezi esatu. Omwana alwadde ebinnyo ebibuno biba...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...