Mu lutuula lwe lumu, John Patrick Amama Mbabazi, 62 naye yakakasiddwa ku bwa Katikkiro wa Uganda wadde nga waabaddewo ababaka abaagezezzaako okumusimbira ekkuuli bwe battukiza eby’ensimbi ezaabulankanyizibwa mu kutegeka olukung’aana lwa CHOGM, ne ssente ezisukka mu buwumbi 11 aba NSSF ze baamuwa mu ttaka ly’olutobazzi e Temangalo mu Wakiso.
Mbabazi yakubiddwaako akalulu , ababaka 225 ne bamusemba, kyokka 18 ne bawakanya okulondebwa kwe ate abalala bana ne batabaako ludda.
Kati Mbabazi ne Sekandi babuzaayo kukuba birayiro mu maaso ga Pulezidenti Museveni, Ssaabalamuzi wa Uganda n’akulira abakozi ba Gavumenti olwo bayingire ofiisi zaabwe mu butongole baweebwe n’ebigenderako ng’abakuumi n’emisaala emisava.
Ssekandi ne Mbabazi baalondeddwa Pulezidenti Museveni nga yeeyambisa obuyinza obumuweebwa mu Konsitityusoni era ebbaluwa kwe yabalondedde yaziweerezza Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga nga May 23, 2011 ng’asaba Palamenti ebakakase.
Ekiteeso ekisaba Palamenti okukakasa Ssekandi ku bumyuka bwa Pulezidenti kyayanjiddwa Mike Mukulu (Soroti Munisupaali-NRM) ne kisembebwa Rebecca Amuge Otengo (Mukazi Alebtong-NRM).
Ababaka bonna baawagidde Ssekandi kyokka Latif Sebaggala (Kawempe North-DP) yalaze okutya nti emisango gy’okulonda Ssekandi gy’awerennemba nagyo mu kkooti e Masaka bwe ginaamusinga ennamusa eyinza okudda ku nnyooge wabula banne baamukubye olube era bwe gwatuuse ku kukuba akalulu y’omu ku baasoose okuwanika nti Ssekandi agwaanidde ekifo.
Ababaka bonna bassizza kimu nti Ssekandi si muli wanguzi, talina bbala lyonna, akwata mpola ensonga ze takulembeza mawanga na ddiini era nti bwe gutuuka ku by’amateeka, obwongo bumwesera.
Abooludda oluvuganya gavumenti baasabye Ssekandi okweyambisa obwogi bw’obwongo bwe mu by’amateeka okuwabula Pulezidenti Museveni ne gavumenti ya NRM okubavvoola n’okuyisa olugaayu mu Konsitityusoni naddala ku nteekateeka ey’okukyusa mu Konsitityusoni okugaana abeekalakaasi okweyimirirwa.
Ekiteeso eky’okukakasa Mbabazi ku bwa Katikkiro kyaleeteddwa Adolf Mwesige (Bunyangabu-NRM) ne kisembebwa Justine Kasule (Mukazi-Bugiri-NRM) wabula ababaka ab’oludda oluvuganya baamusimbidde ekkuuli nga bagamba nti tasaanidde kutuula mu ofiisi nnene bwetyo ng’aliko enziro ku by’ensimbi za CHOGM ne Temangalo.
“Amama Mbabazi, si mwesimbu, tasembererwa, wa mampaati era n’amalala gaamuyingaâ€, Ken Lukyamuzi (Lubaga South-CP) bwe yamwesimbyemu wakati mu kung’oolebwa abamu ku babaka ba NRM.
Yawagiddwa Issah Kikungwe (Kyaddondo South-DP) eyagambye nti Konsitityusoni tekkiriza muntu nga Mbabazi kulya gufo ogwo kyokka Sipiika Kadaga yabakubye ku nsobolotto nti ensonga ze bawanuuza tebaziriinako bukakafu.
Ababaka abaawagidde Mbabazi baagambye nti alina obumanyirivu era muwulize eri Pulezidenti Museveni ne bategeeza nti Mbabazi alina ekitiibwa n’obuyinza.
Palamenti ekakasizza Ssekandi ne Mbabazi