TOP

Balonze omusika wa Bin Laden

Added 18th May 2011

Yamala ekiseera kiwanvuko nga tateng’ana na bin Laden kyokka oluvannyuma baasalawo bateng’ane si kulwa nga babakwata oba okubatta omulundi gumu.

Alowoozebwa nti alina ebyama bya bin Laden bingi bye yamulekera n’enkola y’emirimu n’okwebalamamu okumala gatuusibwako bulabe.

Okukakasa

Yamala ekiseera kiwanvuko nga tateng’ana na bin Laden kyokka oluvannyuma baasalawo bateng’ane si kulwa nga babakwata oba okubatta omulundi gumu.

Alowoozebwa nti alina ebyama bya bin Laden bingi bye yamulekera n’enkola y’emirimu n’okwebalamamu okumala gatuusibwako bulabe.

Okukakasa nti asajjakudde mu by’obwannalukalala, bin Laden yamuwa ekigezo kyakukuba bitebe bya Amerika mu kifo kyonna kyasobola kyokka ng’olukwe lwonna y’alwerukidde n’okulutegeka era okukkakkana ng’ekigezo akiyitidde waggulu bwe yategeka olulumba ssinziggu e Nairobi mu Kenya ne Dar Es Salaam mu Tanzania mu 1998 omwafiira abantu 224 n’abasoba mu 5,000 ne balumizibwa.

Obulumbaganyi buno bwamwongera amayinja ewa bin Laden ne Al Qaeda okutwaliza ewamu  era ekitongole kya Al Jazeera kyategeezezza nti bwe baatudde okulonda anaasikira bin Laden, Adel banne teyabalabizza ku njuba.

Amerika yamuteekako ekirabo kya bukadde bwa ddoola 5 (mu za wa nga 12,000,000,000 ) eri oyo yenna awa amawulire amatuufu agakwata ku wa gy’ali kyokka ensimbi zino zikyabuliddwako azirya kubanga yeekukumye wala.

Kyokka ensonda mu al Qeada zigamba nti okulondebwa kwa al Adel  kwa kiseera kubanga Ayman al-Zawahiri, abadde  Omumyuka wa bin Laden y’asuubirwa okumusikira lwakuba nti abakulembeze ba al Qaeda bakyabuliddwa we basisinkana kubanga Abamerika babalinnya kagere.

Balonze omusika wa Bin Laden

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...