TOP

Gaddafi bamukubye ne yeesasuza ku bayeekera

Added 27th April 2011

Olutalo luno olwatandise ku Mmande okutuusa eggulo lwayogeddwaako ng’abajaasi ba Gaddafi lwe baasinze okukuba ebikompola ku Misrata kubanga baatandise mu matulutulu ne bazibya obudde era abatuuze bangi mu kibuga kino tebaafulumye mu maka gaabwe.

Emmeeri eyabadde epangisiddwa okun

Olutalo luno olwatandise ku Mmande okutuusa eggulo lwayogeddwaako ng’abajaasi ba Gaddafi lwe baasinze okukuba ebikompola ku Misrata kubanga baatandise mu matulutulu ne bazibya obudde era abatuuze bangi mu kibuga kino tebaafulumye mu maka gaabwe.

Emmeeri eyabadde epangisiddwa okunona abayeekera abaalumiziddwa mu lutalo n’abalwadde n’okuleeta obuyambi yasoose n’eremesebwa okugoba n’esooka eddayo wakati mu nnyanja okumala essaawa munaana okutuusa ebikompola lwe byakendeddemu kyokka era wadde yagobye ku mwalo yabadde ekyalemeddwa okutikka abalwadde.

Gaddafi okunyiga n’aduumira abajaasi be obutaddamu kusaagira mu lutalo kyaddiridde ba  NATO okulaalika nti bagenda kumutta era ne basuula bbomu ku mpuku ze mwe yeekukuma eziri mu mbiri ze mu kibuga Tripoli.

Abayeekera baagoba abajaasi ba Gaddafi mu Misrata wakati kyokka basinziira ebweru w’ekibuga ne banyugunya ebikompola eby’ekika kya ‘Grad rockets ‘munda awatali kufaayo oba bakuba mayumba g’abantu baabulijjo oba bayeekera. Kino kireetedde ekibuga kino okufuuka amatongo era nga bannamawulire abaakituseemu bakigerageranya ku kibuga Mogadishu ekya Somalia bwe kifaanana.

GADDAFI YEENYWEZEZA E BREGA

AMAGYE ga Gaddafi genywezezza mu kibuga ky’amafuta eky’e Brega era nga kiyiiriddwamu abajaasi 5000 n’ebyokulwanyisa ebyamaanyi ebikwekeddwa mu binnya okuziyiza abayeekera okuddamu okukiwamba.

Ekibuga kino abayeekera bakiwambako kyokka amagye ga Col Gaddafi ne gakibafuumuulamu.

Ebitongole by’amawulire nga BBC, Reuters ne CNN byategeezezza nti amagye geenywerezza nnyo mu kifo kino nti ebyokulwanyisa byago bingi gabisimidde mu musenyu okulemesa aba NATO okubikuba.

EBYOKULWANYISA BYA GADDAFI BIKYASAANYIZIBWAWO

ABOMUKAGO gwa NATO mu kiro ekyakeesezza eggulo baakubye amagye ga Gaddafi ne basanyaawo ebimotoka ebyokulwanyisa 37.

Abasajja ba Gaddafi eggulo baatutte bannamawulire mu kibuga ky’e Tarhuna, mu bukiikaddyo bwa Tripoli gye baabalaze abantu baabulijjo be baagambye nti bali mu kutendekebwa okulwanyisa abakaafiiri abaagala okuwamba Libya. Mwabaddemu n’abaana abali wakati w’emyaka 13 ne 15 nga bakutte emmundu eza AK47.

BUNGEREZA  ENEEWA ABAYEEKERA EBYOKULWANYISA

BUNGEREZA egambye nti egenda kuwa abayeekera ebyokulwanyisa basobole okufuna embavu ezitwalaganya basajja ba Col Gaddafi abalabika nti bakyabasinga ensumika.

Katikkiro  wa Bungereza  David Cameron  yategeezezza nti bakizudde nti obutawa bayeekera byakulwanyisa kiyinza okulwisawo olutalo lw’e Libya nti kati bagenda kubawa ebikozesebwa batimpule aba Gaddafi.

Bino we bijjidde nga minisita wa Bungereza ow’ensonga ezebweru   William Hague, yakalabula nti olutalo bwe lulabika okutwala ekiseera ekiwanvu.

ABA AU BANYIIGIDDE NATO

MU kibuga Addis  Ababa  ekya Ethiopia ab’ekibiina kya African Union (AU) baategeezezza nti kikyamu aba NATO obutafa ku biteeso bya kibiina kino ebiwakanya okulwana wabeerewo okulonda kwa bonna mu Libya ne kigamba nti NATO kati eyolesa bunyoomi.

Mu kiseera ky’ekimu aba AU batandise obufubo wakati w’abayeekera n’aboludda lwa Col Gaddafi kyokka nga buli kibinja bakisisinkana kyokka okutema empenda ezimalawo okulwana.

AB’EBIKA BAWAGIDDE ABAYEEKERA

Ab’ebika 61 ebikola abantu ba Libya basinzidde mu kibuga ky’abayeekea e Benghazi ne bategeeza nti nabo Col Gaddafi bamukoowa dda ave mu buyinza.

Abeeyise abakulu b’ebika oba abasigire baabwe bategeezezza mu kiwandiko kye bafulumizza eggulo nti bonna bali mabega wa bayeekera kubanga baakoowa effugabbi lya Gaddafi bagala demokulaasi.

 

 

Gaddafi bamukubye ne yeesasuza ku bayeekera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...