Bino okubaawo kiddiridde omukazi eyali mu maka ga Kirumira nga tannawasa Kyejwe okwagala okudda mu bufumbo bwe.
Kyejwe yategeezezza nti baamala omwaka mulamba nga baagalana ne Kirumira kyokka okumufumbirwa kwaliwo mu January omwaka guno nga mukaziwe amaze okunoba.
Yayongeddeko nti okuva Kyejwe bwe yalaga nti ayagala okudda Kirumira yatandika ejjoogo n’amugamba nti baakusula mu muzigo gumu singa eyali maama w’abaana akomawo.
Nze namugamba okumpangisiza omuzigo gwange n’angamba nti talina ssente nti era singa sikkiriza kusula mu muzigo gumu ne muggya wange nze nsobola ogenda, Kyejwe bwe yategeezezza.
Kyejwe kati akuumibwa ku poliisi y’e Nansana era yagguddwaako omusango gwa kwokya bintu mu bugenderevu. Guli ku fayiro nnamba SD/22/24/04/11.
Â
Ayokezza ebintu bya bba lwa butamukyakaza ku paasika