TOP

Kkanso ya Lukwago esinzaako ba kibiina kya NRM

Added 16th March 2011

Okusinziira ku  byavudde mu kulonda kwa Kampala,  NRM yawangudde  ebifo 16 ku bifo 26 ebya bakansala abalondebwa obutereevu nga kuno kwe yagasse ebifo bibiri eby’abavubuka bye yawangula edda olwo n’eweze ebifo 18.   DP  yafunye ebifo mukaaga, FDC ebifo bibiri n’abatajjidde mu kibii

Okusinziira ku  byavudde mu kulonda kwa Kampala,  NRM yawangudde  ebifo 16 ku bifo 26 ebya bakansala abalondebwa obutereevu nga kuno kwe yagasse ebifo bibiri eby’abavubuka bye yawangula edda olwo n’eweze ebifo 18.   DP  yafunye ebifo mukaaga, FDC ebifo bibiri n’abatajjidde mu kibiina ebifo bibiri.

Bakansala babiri abakiikirira abalina obulemu basuubirwa okulondebwa gye bujja wamu ne bakansala abalala bana abakiikirira abasawo, bayinginiya, abakubi ba pulaani ne bannamateeka nga bano baatondeddwawo mu tteeka lya Kampala eppya.

Bonna awamu, bakansala  bagenda kubeera 38 nga  be balina okukola olukiiko, Lord Mayor lw’alina okukola nalwo wabula abatunuulizi b’ebyobufuzi bagamba nti  singa  enkolagana yaabwe ne Lord Mayor tebaawo, tewali kiyinza kutambula mu KCCA.

Okuzinziira ku tteeka lya Kampala, bakansala bano be balina okuyisa amateeka era n’okuyisa ebiteeso okussa mu nkola pulogulaamu n’ebisuubizo bya Meeya wamu ne gavumenti eyawakati era singa basalawo okusibira  Lord Mayor ekikookolo, basobola  okumulemesa  okussa mu nkola ebisuubizo bye era bayinza n’okumuggyamu obwesige.

Etteeka era lissaawo n’obukiiko obw’enjawulo obwa bakansala obulondoola ebitongole bya KCCA era obusinga bwanditwalibwa aba NRM olw’obungi bwabwe era nga nabwo buyinza okumuwa akaseera akazibu.
Ebyavudde mu kulonda biraga nti bakansala abakadde naddala aba DP baawanguddwa, ebifo byabwe ne bitwalibwa abapya ng’abasinga ba NRM.

Lubaga North ebaddeyo  Allen Kisige kyokka Haawa Namugenyi (FDC) yakitutte ate Lubaga South akibaddemu Angela Kigonya (DP) yakyeddiza. Kawempe South omubadde Anne Lubowa Nampeera (DP) kyatwaliddwa Hamida  Nantongo (NRM), Kawempe North sipiika Shifra Lukwago (DP) yakitutte okuva ku mumyuka wa Meeya Florence Namayanja eyafuuse omubaka wa Bukoto West, Kampala Central ekyalimu RDC Alice Muwanguzi (NRM) kyatwaliddwa Margaret Tumwesigye (NRM).

 Mu bakyala, e Makindye,  Maala Zahra Luyinka (DP) yalondeddwa mu Makindye West ekibaddemu  Doreen Nankatya (DP) ate Hadijja Nassanga (DP) yawanguddwa Sarah Muwayire (NRM) mu Makindye East.

Amatendekero ery’e Makerere lisindika babiri. Bernard Luyiga (DP) yasigaddeyo ate munne Pennina Aligaweesa Kabenge yasikiddwa Hope Tumusiime (NRM). E Kyambogo eyabadde Yona Musinguzi eyafuuse omubaka wa Ntungamo Municipality mu palamenti, Mugisha Byarugaba (NRM) yamusikidde.

Ebifo ebirala okuli Central I omwali omugenzi Ceaser Tokoma kyatwaliddwa Daudi Lwanga (NRM), Central II ebaddemu John Mary Ssebuwufu (DP) kyatwaliddwa Alfred Ntabazi (NRM), Kawempe I omubadde Ssali Dan (DP) eyagudde ku bwassentebe kyatwaliddwa Muwanguzi John B (NRM) Kawempe II eya Badru Bakojja yatwaliddwa Sulaiman Kidandala (DP).

Kawempe III Madina Nsereko (NRM) yasigaddeyo, Makindye I omubadde Dr. Mayambala Kiwanuka (DP) kyawanguddwa Allan Ssewanyana ( Ind), Makindye II Abdu Mayanja (DP) yawanguddwa Baker Sserwamba (NRM), Makindye III  ebaddemu Charles Lwanga (NRM) eyagudde ku bwassentebe yatwaliddwa Eliajah Owobusingye (NRM).

Lubaga I abadde omumyuka wa sipiika Godfrey Asiimwe (NRM) yasigaddeyo, Lubaga II omubadde Zachary Mberaze (DP) yawanguddwa owa FDC Joseph Lukwaya, Lubaga III yediziddwa Joseph Mujuzi (DP).

Abaalondeddwa okukiikirira  Nakawa I  Adam Kibuuka (NRM) yasikidde Kibirige Muwanga (DP), ate Apollo Mugume (NRM) yazzeemu okuwangula.

Abakyala abaalondeddwa e Nakawa mulimu Margaret Kiryoowa (DP) owa Nakawa I   ne Stella Babirye (NRM) owa Nakawa II
Ebifo ebirara  omubeera ababaka ab’enjawulo okuli eky’abalema omukyala n’omusajja n’abavubuka omuwala n’omulenzi tebanalondebwa.
 

 

Kkanso ya Lukwago esinzaako ba kibiina kya NRM

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...