TOP

Lukwago awangudde obwa meeya

Added 14th March 2011

Lukwago yawangudde n'obululu 229,325  ate ye sematimba n'amuddirira n'obululu  119,015  ng'awamu amusinze obululu  110,310 ebyavudde mu kalulu byonna birangiriddwa ku saawa nga kumi n'emu

Lukwago yawangudde n'obululu 229,325  ate ye sematimba n'amuddirira n'obululu  119,015  ng'awamu amusinze obululu  110,310 ebyavudde mu kalulu byonna birangiriddwa ku saawa nga kumi n'emu kitundu nga bukya nga birangirirddwa akulira eby'okulonda mu kampala  Molly Mutazindwa e Lugogo

Abalala ababadde mu lwokaano kuliko omubaka wa  Makindye East Mike Mabikke( SDP ) , Capt Edward Francis Babu ono yazze ku bwannamunigina ne Sandra Ngabo  Katebarirwe ne Emmanuel Tumusiime owa Forum for Integrity in Leadership's

Mu kulangirira ebyavudde mu kulonda sentebe w'akakiiko ak'eby'okulonda eng Badru Kiggundu, abaddewo naye n'omumyuka we  Joseph Biribonwa,omuwandiisi w'akakiiko ak'eby'okulonda  Sam Rwakojo, n'abakungu b'akakiiko abalala

Lukwago y'asoose ekitiibwa kya  Lord mayor mu kampala metropolitan eyatondebwawo mu December, w'omwaka ogwaggwa

Lukwago y'amezze  Sematimba mu magombolola gonna ataano agakola  Kampala  okuli  Nakawa,Kawempe,Lubaga,Kampala Central and Makindye,era nga amagombolola gano gonna nago gaafuulibwa dda municipaali mu  nkyukakyuka empya

 Lukwago amangu ddala ng'amaze okulangirirwa ku bwa Lord Meeya asuubizza okutabaganya bannakampala bonna mu nteekateeka ze ez'okufuula ekibuga Kampala eky'omulembe, ekituukanan'omutindo gw'erkibuga ekikulu eky;eggwanga

Lukwago mu ngeri y'emu asabye omukulembeze w'eggwanga okumulondera excective director gw'anasobola okukwatagana naye obulungi  mu kukakalabya obulungi emirimu gy'ekibuga n'eggwanga okutwalira awamu

Lukwago awangudde obwa meeya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr.Nelson Musoba ng'akwasa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ekirabo.(Ebif. Dickson Kulumba).

Kabaka alagidde wateekebwew...

KABAKA alagidde wateekebwewo akakiiko okunoonyereza ku kiki ekyaviirako okwekalakaasa n’enfa y’abantu abasukka...

Abamu ku baddusi nga boogera n'abaserikale. (Ekif. Ddamba Tadeo)

Poliisi eremesezza ab'e Kir...

Poliisi mu Kira Municipality eremesezza abantu abaabadde bakedde okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja...

Mukyala wa Lukwago n'abaana baabwe.

Omusuubuzi w'e Bugoloobi ey...

ABOOLUGANDA lwa Martin Lukwago omu ku basuubuzi mu katale k'e Bugoloobi abaakwatibwa ebitongole by'ebyokwerinda...

Abantu nga bakonkomalidde awaagudde ekimotoka.

Balaajanidde poliisi ku loo...

Abatuuze b'e Luseera - Kateera e Kiboga balaajana olw'ekimotoka ekizibye ekkubo lyabwe nga kati kimaze wiiki nnamba...

Ssentebe wa LC V e Buyende Robert Ziribasanga ng’alambuza ababaka ba palamenti woodi y’abakyala etaggaddwaawo.

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekku...

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu erijjanjaba abalwadde abasoba mu 3,000, liggaddwaawo oluvannyuma lw'abasawo 24 okusangibwa...