TOP

Lukululana egoyezza emmotoka ku Kaleerwe

Added 10th March 2011

Mu baafiiriddewo mulimu Moses Othieno abadde akola mu Centenary Bank ne Ahmed Ssebanakita ng’ono ye yabadde avuga mmotoka y’ekika kya Corona nnamba UAG 451E ssaako eyabadde avuga mmotoka e’yekika kya Elf  omwabadde  amafuta ng’ono yamunyigidde ku siteeringi kyokka teyabadde na biwandiiko b

Mu baafiiriddewo mulimu Moses Othieno abadde akola mu Centenary Bank ne Ahmed Ssebanakita ng’ono ye yabadde avuga mmotoka y’ekika kya Corona nnamba UAG 451E ssaako eyabadde avuga mmotoka e’yekika kya Elf  omwabadde  amafuta ng’ono yamunyigidde ku siteeringi kyokka teyabadde na biwandiiko bimwogerako.

Akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa 3 ez’ekiro ku Lwokusatu mmotoka ya lukululana nnamba UAJ 321R eya kkampuni ya William C Hockin Transpoters LTD eyabadde eva ku ludda lw’e Bwaise ng’edda ku Kaleerwe bwe yalemeredde omugoba waayo n’ekoona mmotoka ezaabadde mu kalippagano. Yasoose kukoona mmotoka ey’ekika kya Elf etambuza amafuta, ssaako ne Corona eyanyigiddwa wakati wa lukululana ne Elf.

Omu ku baasimatuuse  akabenje kano Julius Kabanda era nga mukozi mu kitongole ekikola ku by’omutindo (Uganda Bureau  of Standards) yategeezezza nti yabadde ava ku mulimu ne kizibwe we Othieno ng’akola mu Centenary Bank kwe kusalawo basale ku  jaamu ne bayita ku luguudo lwa Northern Bypass bwe baatuuse mu kkoona okumpi ne Kaleerwe eyabadde avuga kwe kwagala okuyisa lukululana kyokka ng’emabega waliyo mmotoka eyabadde eyisa eno ye yamunyize n’akutukirawo.

Kabanda agamba nti mu kavuyo ng’akabenje kaguddewo abeefudde abadduukirize baamubyeeko ensimbi ze 300,000/-  n’amasimu  abiri. Ayongerako nti omugoba wa lukululana yalabye emulemye okusiba n’abuukamu n’adduka.

Ye Kabanda yafunye ebisago ku mutwe oluvannyuma lw’okunyigibwa omutwe ssaako n’ekifuba nga kati ali ku kitanda e Mulago. Othieno n’eyabadde avuga Elf emirambo gyabwe gyatemeddwa mu mmotoka na mbazzi olw’okuba baabadde banyigiddwa nnyo.

Kyokka ate abeefudde abazze okudduukirira abaalumiriziddwa baatandise kusumulula bbatuule n’ebyuma ebirala ku Corona ssaako n’okubba amafuta  mu Elf.

Atwala Poliisi y’e Kawempe Moses Ochieng yategeezezza nti abantu bavuga nnyo endiima ku luguudo lwa Northern Bypass so ng’amateeka galagibwa obutasukka sipiidi ya kiromita 70 buli ssaawa.


Lukululana egoyezza emmotoka ku Kaleerwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...