Kkooti etuula nkya ku Lwokuna, okuwulira okwemulugunya kwa Kasibante eyeekubidde enduulu ng’awakanya okuddamu okubala obululu.
 Kasibante yalangirirwa ng’awangudde akalulu ka Lubaga North nga February 18. Kyokka Singh Katongole n’asaba kkooti okubala obululu kuddibwemu. Kino kyako-leddwa era akulira okulonda mu Kampala, Molly Mutazindwa n’alangirira Katongole ku buwanguzi.
AKAKIIKO KAMANYI KATONGOLE
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda, Charles Ochora yategeezezza nti bo bamanyi Katongole nti ye mubaka wa Lubaga North oluvannyuma lw’obululu okuddamu okubalibwa n’asinga Kasibante eyalangirirwa mu kusooka.
N’agamba nti oyo yenna awulira nga si mumativu n’obuwanguzi bwa Katongole wa ddembe okugenda mu kkooti naye bbo ng’akakiiko eby’e Lubaga North baabimaze tebajja kubiddamu.
Omulamuzi omuto ow’e Mengo, Philpo Odoki yalagidde obululu buddemu okubalwa ku Mmande kyokka Kasibante n’afuna ekiragiro kya kkooti ekiyimiriza okubuddamu kyokka omulamuzi n’agaana kuba ekiragiro kyatuuse baata-ndise dda okubala obululu.
Kisawuzi yategeezezza nti bbo ng’aba kkooti enkulu batandise okubuuliriza ku byakoleddwa ku kkooti e Mengo ebimenya amateeka ne batuuka n’okuzimuula ekiragiro kya kkooti nga ne Odoki bamutwaliddemu. Anaazuulwa mu nsobi wakukangavvulwa.
Eggulo Kasibante ne balooya be baagenze mu kkooti okuwuliriza omusango gwe baawaabye okuyimiriza okudamu okubala obululu, wabula balooya ba Katongole okuli Asa Mwesigye ne bategeeza nti baabadde tebetegese.  Â
Baategeezezza nti balooya ba Kasibante baabawadde kikeerezi ebiwandiiko omuli okwemulugunya kwabwe nga betaagayo obudde okubyetegereza.
Omulamuzi   Vincent Zehurikize yalagidde okuwulira ensonga zino enkya ku Lwokuna.
Kasibante ne balooya be baatuuzizza olukiiko lw’abamawulire ne bawakanya okulangirirwa kwa Katongole nti kuli bweru w’amateeka.
Erias Lukwago yagambye ng’oggyeko okujeemera ekiragiro kya kkooti, akulira okulonda Mutazindwa yabadde tateekwa kubala bululu obwo. Bulina kubalibwa Mulamuzi.
Katongole yabadde amaze okutegeeza nti ye assa ekitiibwa mu mateeka era bwe yalaba nga bamubbye kwe kwekubira enduulu mu kkooti, amazima ne geeyoleka kubanga Katonda yalya nguzi.
Â
Â
Â
Akalulu k’e Lubaga kazzeemu enkalu