Jinja erina ababaka 5, okuli : Nathan Igeme Nabeta (Jinja Municipality East), Harry Kasigwa (Jinja Mucipality West), minisita Daudi Migereko (Butembe), Nampala wa Gavumenti, ow’essaza ly’e Kagoma Fredrick Mbagadhi Nkayi ne Muky. Ruth Tuma (Mukazi- Jinja).
Akalulu mu Jinja
Entebe y'omubaka omukazi owa disitulikiti. eriko aba NRM babiri okuli sipiika wa Disitulikiti y’e Jinja, Agnes Nabirye, abadde omubaka Ruth Tuma ne Hajjati Betty Sarafiina Namusobya.
Mu Ssaza ly’e Kagoma waliyo abeesimbyeewo 11 okuli: Walyomu Muwanika, David Wakudumira, Lawrence Tarugende n’omubaka Nkayi Mbagadhi, eyaliko omubaka Dr. Frank Nabwiso y’ayinza okweddiza entebe ng’abamu bagamba nti bajjukira bwe yabalwanirira mu kiseera Madhivan we yayagalira okutwala ekibira ky’e Butamiira.
Ku basongedwaamu olunwe mu Ssaza ly’e Kagoma, ye ssentebe w’e Ggombolola y’e Butagaya, Moses Walyomu Muwanika, eyeesimbawo ku kamyuufu ka NRM n’agwa kyokka ng’abasinga mu kitundu kino balaba nga ku babiri asinzaako obuwagizi ku mubaka Nkayi.
Jinja Municipality East
Kino kye kitundu ekisingamu amakolero. Eno Omubaka Nathan Igeme Nabeta yeesimbyewo ne looya Paul Mwiru ali ku kaada ya FDC. Looya Mwiru agamba nti, Jinja East terina ssomero lya siniya erya Gavumenti wadde etterekero ly’olukale.
Ye Omubaka Igeme Nabeta agamba nti, Jinja esaana kutambulira ku mulembe gwa kompyuta, nga kyetaagisa kuyungibwa ku yintaneti.
Jinja Municipality West
Okuvuganya okw’amaanyi kubadde wakati w’Omubaka Harry Kasigwa ne Grace Moses Balyeku azimbye akatale, eddwaaliro, agabye ebitabo n’ebintu ebirara okulaga nti singa alondebwa ku kifo ky’omubaka ajja kukola ebisingawo.
Abamuwakanya bagamba nti, bw’alondebwa ku bubaka tagenda kudda kuba asaasaanyizza ensimbi nnyingi, z’alina okuzzaawo.
Mu lwokaano mulimu ne Zaake Kibedi, agamba nti yasibibwa olw’okuyamba abavubuka be yeewolera pikipiki 35 wabula olwazifuna ne badduka.
Omubaka wa Butembe, minisita Daudi Migereko alwanirira okweddiza ekisanja eky’okuna mu Palamenti abalonzi bagamba nti okuva lwe yafuuka Nampala wa Gavumenti takyalina kiseera kigenda kubakyalira era tasula mu kitundu. Kyokka minisita Migereko agamba nti wadde si gy’asula naye gy’azaalibwa era akoze kinene okukikulaakulanya.
Abantu 8 be beesimbyewo okuvuganya ku kifo ky'omubaka w'essaza ly’e Butembe, okuli Lt. Hannington Basakana, Mathias Miti, Munnamawulire John Banalya, Daudi Muwuliza, Muwanika Mukulu ne Grace Kirya Wanzala.
Â
Â
Ani atwala Jinja mu kalulu kano?