“Mu kiseera kino kye musinga okwetaaga kwe kweggya mu bwavu, ezo entalo za Ssekikubo ne Nkalubo teziggya kubawonya bwavu n’olwekyo muzikomye,†Pulezidenti bwe yagambye.
Yagambye nti mu kiseera kino Gavumenti ya NRM essira eritadde ku kuggya bantu mu bwavu era n’alagira NAADS eve ku disitulikiti ne ku Ggombololola egende mu bantu kubanga eyo ye wali emirimu gyayo.
Yalagidde buli muntu eyaggyibwako ssente za NAADS zimuddizibwe mu bwangu kubanga eyo enkola terina bw’eyamba muntu munaku agezaako okweggya mu bwavu.
Mu kusooka nga Pulezidenti tannatuuka, omubaka wa Lwemiyaga mu Palamenti, Theodore Ssekikubo yasoose kwenyoola n’abaserikale abakuuma Pulezidenti abaabadde basindikiddwa okunyweza eby’okwerinda ku lukung’aana lwa Museveni e Lwemiyaga mu Ssembabule.
Poliisi eyitiddwa n’ekuba omukka ogubalagala mu bantu okukkakkanya embeera kireme kutaataaganya lukung’aana Museveni lwe yakubye ku kisaawe e Lwemiyaga ng’asaba obululu.
Ssekikubo okuva mu mbeera kyaddiridde abawagizi ba Patrick Nkalubo eyeesimbyewo ku lulwe okuvuganya Ssekikubo, okutimbula olugoye olwabaddeko ekifaananyi kya Museveni ne Ssekikubo olwabadde luwanikiddwa ku weema ya Pulezidenti.
Kigambibwa nti abawagizi ba Nkalubo baabadde beesasuza olw’ekikolwa ky’abawagizi ba Ssekikubo eky’okutimbula olugoye olwabaddeko ekifaananyi kya Nkalubo ne Museveni olwabadde etimbiddwa mu maduuka g’e Lwemiyaga, Pulezidenti we yabadde alina okuyita.
Ssekikubo eyabadde awerekeddwaako ekibinja ky’abawagizi be, yalumbye omuserikale akuuma Pulezidenti eyategeerekeseeko erinnya erimu erya Capt. Frank ng’amulumiriza nti ye yayambyeko abawagizi ba Nkalubo okutimbulayo ekifaananyi kino.
Wakati mu kuwaanyisiganya ebisonguvu wakati wa Ssekikubo ne Capt. Frank, abawagizi ba Nkalubo nabo bazze olwo ne batandika okukubagana n’aba Ssekikubo ekyawalirizza poliisi ekkakkanya obujagalalo okujja amangu n’ebakubamu omukka ogubalagala.
 Abaserikale abalala abakuuma Pulezidenti bazze ne batakkuluza Ssekikubo ku Capt. Frank kyokka abawagizi ba Ssekikubo n’aba Nkalubo ne basigala nga bakyakubagana.
Ssekikubo yagambye nti ekisinze okutabula eby’obufuzi bya Ssembabule, be bakuumaddembe abasuubirwa obutabeerako kyekubiira ate okulaga oludda lwe bawagira n’abalumiriza okunyigiriza abawagizi be.
Kyokka Nkalubo yategeezezza Bukedde nti Ssekikubo n’abawagizi be baludde nga batimbula ebipande bye.
Guno mulundi gwakusatu nga Ssekikubo yeenyoola n’abakuumaddembe e Ssembabule.
Abawagizi ba Ssekikubo balwanye n’aba Nkalubo